Poliisi mu ggwanga erya Malawi ekutte abantu 4 ku misango gy’okweyambisa ssente mu ngeri emenya amateeka wakati mu kulaga baganzi baabwe omukwano.

Ku Ssande ku lunnaku lwa baagalana, waliwo ekimuli kya Valentayine, ekyatambudde ku mikutu migatta bantu, nga bakutte obusente 2000 obwe Malawi, ezimanyiddwa nga ‘kwacha”, ne bazinga obuwera ne buteekebwa ku kimuli kya Valentayine.

Wabula akulira okunoonyereza mu Bbanka enkulu mu ggwanga erya Malawi Emmanuel Malasa, agambye nti nga begatiddwako Poliisi, bakutte abantu 4 ku misango gy’okweyambisa ssente mu ngeri emenya amateeka.

Bbanka egamba nti okufulumya ssente empya kyabuseere nga kimenya amateeka mu kiseera kino, omuntu yenna okudda ku ssente okuzizanyisa.

Poliisi egamba nti abakwate singa emisango gibasinga, bayinza okuwa engasi ya Biriyoni 5 eze Malawi kyokka abakwate begaanye emisango gyonna.