Amaggye getoonze ku ffujjo eryakoleddwa ku bannamawulire abakubiddwa emiggo wakati mu kutambuza emirimu gyabwe olunnaku olw’eggulo.
Abaakubiddwa bakedde kukwata mawulire nga Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform-NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), atwala okwemulugunya kwe ku nsonga y’okutyoboola eddembe ly’obuntu mu offiisi ekola ku nsonga ezo mu kibiina ky’amawanga amagate e Kololo.
Wabula Poliisi yakkirizaako, Kyagulanyi, omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi, ssaako n’omuwandiisi w’ekibiina Lewis Lubongoya okuyingira munda era abaasigadde ebweru okuli bannakibiina kya NUP ssaako ne bannamawulire okulinda abaagenze munda , balabiddawo ng’amaggye gayingiddemu.
Bannamaggye nga bakutte embukuuli z’emiggo, ssaako n’okwambala ebikofiira ku mitwe okubikka ffeesi zaabwe, bakubye buli muntu, era bannamawulire bakubiddwa nnyo.
Ku baakubiddwa kuliko bakozi bannaffe wano Nakaayi Rashidah, Nalule Aminah, John Cliff Wamala owa NTV, Josephine Namakumbi ne Joseph Sabiti aba NBS n’abalala.

Kati no omuduumizi w’amaggye mu ggwanga Gen. David Muhoozi mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’amaggye e Mbuya yeetondedde bannamawulire abaakubiddwa era asuubiza nti amaggye gagenda ku bajanjaba.
Mungeri y’emu agambye nti abasirikale bonna abenyigidde mu kutimpula bannamawulire emiggo bagenda kuvunaanibwa ssaako n’okutendekebwa ku ngeri y’okukolagana ne bannamawulire.