Poliisi e Kamuli eriko Pasita gw’ekutte ku misango gy’okubba ebintu mu ssabo nabitwala mu kkanisa ye.
Pasita Alex Mukisa, akulembera ekkanisa ya Prayer-force Ministries ku kyalo Butabala mu disitulikiti y’e Kamuli yakwattiddwa.
Pasita Mukisa, yalabiriza omusawo w’ekinnansi Paul Alilumboyo ng’atambuddemu okuyingira mu ssabo okutwala ebintu ebiri mu bukadde 3 omuli Baketi omuteekebwa ssente nga mwabaddemu 1,600,000/=, engoye z’abalwadde ssaako n’ebintu ebirala.
Ku Poliisi y’e Butabala, Pasita Mukisa akkiriza okwenyigira mu kubba ebintu mu ssabo kyokka agambye nti ekyamutwala okubba, kwe kunoonya amaanyi mu kusabira abantu era y’emu ku nsonga lwaki engoye ezabiddwa mu ssabo, yazitadde mu kkanisa.
Michael Kasadha, omwogezi wa Poliisi e Busoga North agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku Pasita akwattiddwa kasita ekirungi ekkiriza emisango.
Ekifaananyi kya Daily Monitor