Ekifaananyi ky’omuyimbi Winnie Nwagi kyogezza abasajja obwama era bangi bakkiriza nti ddala omwana alina ‘Work’.

Mu Uganda, Nwagi y’omu ku bayimbi abakyala abakola obulungi mu kisaawe ky’okuyimba era ennyimba ze omuli Matala, Everything, Yitayo, Musawo, ziraga nti ddala mukyala alina talenti.

Nwagi, asobodde okweyambisa omukutu gwe ogwa Instagram okuteekayo ekifaananyi kyokka waliwo abasajja abasigadde nga basabbaladde olw’ekifaananyi n’okwewunya engeri Katonda gye yatonda Nwagi olw’endabika ye

Nwagi ng’alaga Work

Mu kifaananyi, Nwagi asobodde okulagako nti mukyala alina ‘work’ era asobodde okulaga akabalaza ka vuvuzera, abasajja abamu ne bayiika endusu.

Related Stories
VIDEO: Bootylicious and succulent Winnie Nwagi extends her contract with giant record label Swangz Avenue

Winnie who joined Swangz Avenue in 2014 has been such a great success working with Read more

LABA EBINTU! Winnie Nwagi alaze bwefaanana, asabbalaza abasajja bw’alaze ettutu waaya ne ziyomba

Abamu ku bawagizi b'omuyimbi Winnie Nwagi basigadde basobeddwa ku ngeri omuntu waabwe bw'asukkiridde okusabbalaza abasajja Read more

Nwagi agamba nti tewali muntu yenna ayinza kumulemesa kweyagala era alina okukola ebintu eby’enjawulo ebimuwa essanyu n’okusanyusa abawagizi be.

Akagoye ka Nwagi kawadde abantu essuubi

Mu kiseera kino y’omu ku bayimbi abakyala abategeera kye bayita omukizi n’okufuna abawagizi abamugoberera olw’ennyambala ye.


READ  Succulent Winnie Nwagi pops Ciroc and booty at Guvnor