Bya Nalule Aminah

Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangiridde bannamateeka be okuggyayo omusango mu kkooti ensukkulumu.

Kyagulanyi yaddukira mu kkooti okuwakanya obuwanguzi bwa ssentebe we’kibiina ki NRM Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okwaliwo omwezi oguwedde nga 14, Janwali, 2021.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya NUP e Kamwokya, Kyagulanyi agambye nti kkooti eremereddwa okulaga nti betengeredde mu ntambuza y’emirimu.

Agamba nti oluvanyuma lw’okutwala omusango mu kkooti, Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, yakasisinkana Museveni emirundi 3, ekiraga nti ezinira ku ntoli ze.

KIWEDDE! Bobi Wine musanyufu nnyo mu mutima, bamugulidde emmotoka ya bukadde na bukadde bwa ssente, eno teyitamu ssasi ya ‘Bullet Proof’

Kyagulanyi era agambye nti omuntu yenna okuwangula omusango mu kkooti, alina okuba ng’alina obujjulizi kyokka kkooti ensukkulumu, yamulemesezza okutwala obujjulizi mu kkooti nga tewali nsonga yonna lwaki basigala mu kkooti.

Kyagulanyi alagidde bannamateeka be okwanguwa okuggyayo omusango mu kkooti, gutwalibwe eri bannayuganda bonna okusalawo ku ggwanga lyabwe.