Poliisi ekutte abasawo b’ekinnansi 2 ku misango gy’okudda ku muyizi wa Yunivasite ne bamusobyako kirindi.

Abakwattiddwa kuliko Namukadde Nazario Bazarwa ali mu gy’obukulu 72 ssaako ne mukwano gwe David Bamwetaki ali mu gy’obukulu 50 nga bonna batuuze ku kyalo Nyantoma mu ggombolola y’e Kashenshero mu disituliki y’e Mitooma.

Okusinzira ku Poliisi, omuwala ‘amannya gasirikiddwa’ yagenze mu ssabo okunoonya eddagala, eritangira muganzi we okwenda kyokka abasawo b’ekinnansi baamusabye okusulayo, bamukoleko obudde bw’ekiro.

BAMBI! Poliisi ekutte abasajja 4 ku by’okulaga omukwano ogusukkiridde baganzi baabwe ne bawunga, baguddwako emisango emikambwe

Omuwala agamba nti ekiro, abasawo b’ekinnansi bayingidde mu ssabo ne bamusaba okugyamu akawale k’omunda bamukoleko, era amangu ddala omukadde eyabadde akanudde amaaso ssaako n’okuyiika enduusu, yasoose kumukwatirira, nga yafudde amusiiga eddagala mu bitundu by’ekyama.

Wakati mu kulukusa amaziga, Omuwala agamba nti bombi, bamusobezaako kirindi ne bamusuubiza okumusindikira ebisiraani mu bitundu by’ekyama okuwunya singa ategezaako omuntu yenna.

Martial Tumusiime

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Bushenyi Martial Tumusiime agambye nti omuwala agambye nti muyizi ku Kampala International Yunivasite ettabi lye bugwa njuba era Poliisi etandiise okunoonyereza.