Kyaddaki omugagga we Masaka Emmanuel Lwasa ayogedde amazima lwaki yakkiriza okwanjulwa mu bazadde b’omukyala Angel e Luweero olunnaku olw’eggulo wadde abadde alina abawala ab’enjawulo.

Lwasa mu bazadde ba Angle

Amawulire galudde nga gayitingana nti Lwasa ali mu laavu ne munnamawulire omukozi ku BBS TV Diana Nabatanzi era eggwanga libadde lisuubira nti essaawa yonna bagenda kweyanjula mu bazadde.

Diana Nabatanzi mu biseera bye eby’eddembe

Wabula Lwasa oluvanyuma lw’omukolo, agamba nti abadde alina abawala ab’enjawulo kyokka nga tebalina mpisa, tebamuwa kitiibwa n’okumujolonga ate nga ye abawa buli kimu.

Related Stories
Lwasa Sent Side Hen Dianah Nabatanzi To Dubai A Week Before Kwanjula Ceremony With Angel

A bonk champ will always be a bonk champ! Latest and exclusive info coming through Read more

Bwe yabadde awayamu ne bannamawulire ba Bukedde TV, yagambye nti yawa Nabatanzi emmotoka ya Bukadde bwa ssente emuweesa ekitiibwa, yamuwa bizineensi ssaako n’okumuwa amaka nga mulimu buli kimu kyokka abadde alina okunoonya omukyala ng’alina empisa.

Lwasa alabudde Nabatanzi nti wadde muwala mulungi, alina okumanya nti kano akadde ka Angle.

Eddoboozi lya Lwasa


  • 6.2K
    Shares
READ  Dianah Nabatanzi Officially Gives Up On Bonk Champ Lwasa After Losing Waya War