Abamu ku bawagizi b’omuyimbi Lydia Jazmine banyivu nnyo nga bagamba nti omuntu waabwe asukkiridde okutulunya omuntu wawansi.

Oyo bamuyita Jazmine

Mu kiseera kino tewali kubusabuusa kwonna, Jazmine y’omu ku bayimbi abakyala abakoze obulungi okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba era olw’eddoboozi lye, alina abawagizi bangi nga basajja.

Jazmine ng’omukyala omulala yenna, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram era ataddeyo ekifaananyi ng’ayambaddeko bulungi nga kirabika yabadde alinako olugenda oba ekivvulu.


Jazmine ng’ayambaddeko okwetegekera olugendo

Wadde Jazmine abadde ayambaddeko bulungi, abamu ku bawagizi be bagamba nti asukkiridde okunyigiriza n’okutulugunya omuntu wawansi era basigadde bakukuluma.

Jazmine wadde muwala alabika bulungi, talina musajja amanyikiddwa kyokka okuva omwana oguwedde, ebigambo bibadde biyitingana nti ali mu laavu ne muyimbi munne Fik Fameica wadde tewali muntu yenna alina bukakafu ku bigambo ebyo.