Bya Nakaayi Rashidah

Bannamateeka ba National Unity Platform (NUP) baddukidde mu kkooti enkulu mu Kampala okusaba kkooti ekkirize okuyimbula abantu baabwe 36 abali ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri amenya amateeka.

Bannamateeka bawakanya ekya kkooti y’amaggye, okugaana okuyimbula abantu baabwe nga 15, Febwali, 2021 nga bekwasa nti singa bayimbulwa bayinza okutabangula ekibuga Kampala.

Abamu kw’abo abali ku limanda mu kkomera lye Kitalya ne Kigo mwe muli Edward Ssebufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe, omuyimbi Bukeni Ali amanyikiddwa nga Nubian Li ssaako ne banaabwe 34.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga 3, Janwali, 2021 mu bitundu bye Makerere Kavule mu zzooni y’omu Kigundu e Kawempe, abavunaanibwa baasangibwa n’amasasi magazine 4 ag’emmundu ya AK 47 mu ngeri emenya amateeka.

Bannamateeka ba NUP mu kkooti

Wabula bannamateeka ba NUP nga bakulembeddwamu Benjamin Katana, bagamba nti kkooti y’amaggye yalemwa n’okulaga olunnaku  abakwate lwe balina okudda mu kkooti, omusango okuddamu okuwulirwa, ekikolwa kya kutyoboola ddembe lya buntu.

Oluvanyuma lw’okutwala omusango mu kkooti, balinze kkooti okubawa olunnaku olw’okuwuliriza omusango gwabwe.

Nubian ne banne bakwatibwa nga 30, December, 2020 mu bitundu bye Kalangala, Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu ( Bobi Wine) bwe yali anoonya akalulu ku bwa Pulezidenti bwa Uganda.
Wadde kkooti esookerwako e Masaka yali ekkiriza beyimirirwe ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa ebyali biyinza okutambuza Covid-19, amaggye gabatwala mu kkooti y’amaggye ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa.