Poliisi e Kyotera eri mu kunoonyereza ku kyavuddeko omusajja eyakwattiddwa ku misango gy’okubba vanira ate okulayibwa.

Ronald Mayanja nga mutuuze ku kyalo Kyakonda mu Tawuni Kanso y’e Kasaali yasangiddwa lubona ng’ali mu kubba vanira w’omutuuze Joseph Katamba.

Kigambibwa Katamba nga yegatiddwako abakozi abalala, baakutte Mayanja ne bamulaawa ku mpaka era abatuuze bebasobodde okuyita Poliisi, okumutwala mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi, yenna atonnya musaayi.

Wabula Hassan Hiwumbire, addumira Poliisi mu kitundu ekyo, agambye nti Katamba agiddwako sitetimenti ku misango gy’okubba Vanira we era Poliisi eyingidde mu nsonga ezo okunoonyereza ku by’okulaawa Mayanja.

Poliisi egamba nti obubbi bwa vanira bweyongedde mu Kyotera wabula ebikwekweeto bigenda kweyongera okunoonya ababbi bonna.