Poliisi mu kibuga kye Mbale ekutte abadigize 22 ku misango gy’okusangibwa mu bbaala nga bali mu kunywa ate mu ssaawa za Kafyu.

Wakati mu kulwanyisa Covid-19, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yaggala ebbaala zonna mu ggwanga wabula mu kikwekweeto kya Poliisi, abadigize 22 bakwattiddwa nga bali mu kunywa obudde bw’ekiro.

Ekikwekweeto ekibadde kikulembeddwamu addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Mbale Fred Ahimbisibwe, abakwate bagiddwa mu Oax bar and restaurant ku kyalo Namakwekwe ward ku ssaawa nga 5 ez’ekiro ku Ssande nga 28, Febwali, 2021.

Abamu ku basajja basangiddwa nga bayingidde mu kabuyonjo z’abakyala olw’okutya okukwattibwa Poliisi.

Rogers Taitika, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Elgon agamba nti abantu okweyongera okunywa omwenge mu ssaawa za kafyu, y’emu ku nsonga lwaki Poliisi yakoze ekikwekweeto ku bbaala zonna mu kitundu.
Mungeri y’emu agamba nti abamu ku badigize badduse oluvanyuma lw’okulaba Poliisi.

Abakwate batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Mbale ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okusasaanya Covid-19.
Kigambibwa abamu ku bakwate bakozi ba Gavumenti.