Wuuno omusajja awandikidde omuyimbi Lydia Jazmine ebbaluwa mu ngeri y’okulaga nti omutima gusula wuwe.
Jazmine y’omu ku bakyala abakola obulungi mu kisaawe ky’okuyimba, mukyala ayimba bulungi, alina eddoboozi eddungi, muwala muto, alina empisa ate muntu wa bantu.
Ku myaka 30, alina ennyimba ez’enjawulo omuli Masuuka, Omalawo, Olindaki, Wankolera, Jimpe, Hit and Run, Ebintu Byange, Guno Omukwano, Mpanirira n’enyimba endala era y’omu ku bakyala aboogerwako okwekuumira ku mutindo.

EBY’OMUKWANO!
Jazmine wadde mukyala mulungi ate akyali muwala muto, talina musajja yenna amanyikiddwa mu kiseera kino newankubadde ayogeddwako nti abadde alina abasajja ab’enjawulo.
Abamu ku basajja mwe muli Eddy Kenzo, Fik Fameica n’abalala.

Rema ku siteegi, Jazmine ne Kenzo nga banyumirwa mu 2018

Ku bya Kenzo eyali bba w’omukyala Rema Namakula, okuva 2018, ebigambo byali biyitingana nti Kenzo ali mu laavu ne Jazmine era mbu y’emu ku nsonga lwaki Rema yafuna obutakaanya ne bba.
Kenzo yalabwako emirundi egy’enjawulo ne Jazmine mu bifo eby’enjawulo kyokka emirundi mingi, Jazmine yavaayo okutegeeza nti Kenzo mukwano gwe nnyo ng’omuyimbi era abantu balina eddembe okutambuza ebigambo byabwe.

Wadde Lydia Jazmine yegaana okwagala Kenzo, Rema yafuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya era nga 14, November, 2019, yamwanjula mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.
Rema yali yakazaalira Kenzo omwana omu yekka kyokka wadde yafuna Hamzah mu 2019, tannazaala mwana mulala.
Mu kiseera kino Rema ali mu ssanyu ne kabiite we Hamzah kyokka Kenzo talina mukyala amanyikiddwa era kigambibwa nakyeyombekedde.

Lydia Jazmine ne Fik mu biseera byabwe eby’eddembe

Ate Fik Fameica, okuva omwaka oguwedde ogwa 2020 n’okusingira ddala ku muggalo gw’okulwanyisa Covid-19, ebigambo bibadde byogerwa nti kati Jazmine ali mu laavu ne Fik era mbu y’emu ku nsonga lwaki balina kolabo y’oluyimba ‘Binji’ ssaako ne Fik okweyambisa Jazmine mu vidiyo y’oluyimba lwe ‘Muko’.
Wabula Jazmine era agamba nti Fik mukwano gwe ng’abayimbi abalala, tali mu laavu, ekireetedde abasajja bangi okulowooza nti talina musajja alina ku mudaala gwa banoonya.

EBBALUWA!
Jazmine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ebbaluwa gye yafunye okuva eri Mukiibi Sperito.
Ebbaluwa, Mukiibi agamba nti, “Dear Lydia” tekuli bigambo birala wabula yasobodde okumansirako amazzi nasaako n’omukono “Yours Lovely Mukiibi Sperito”.

Ebbaluwa ya Mukiibi eri Jazmine

Wabula kigambibwa nti ebbaluwa yabadde ya mukwano kyokka Mukiibi okutya okuwandiika ekigambo kyonna y’emu ku nsonga lwaki yabadde alina okweyambisa amazzi ng’akabonero akalaga nti singa Jazmine akkiriza okwegandanga naye, yesuunga mazzi ge.

Jazmine naye asigadde asobeddwa era naye asigadde yebuuza “Sperito Abadekyi