Poliisi mu Kampala ekutte abantu 15 omuli n’abantu basatu (3) okuva mu famire emu ku misango gy’okubba mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo era kati giwunye nga balina okwewozaako.
Omwami n’omukyala Lule baakwatiddwa nga bagezaako okulemesa ebitongole ebikuuma ddembe okukwata mutabani waabwe Ssetimba Samuel myaka 20 ku kyalo Kawala e Rubaga mu Kampala ku misango gy’okubba Euros 100.000.

Abalala abakwate nga giwunye kuliko Mugisha Julius owa bodaboda, omutuuze mu Tawuni Kanso y’e Wakiso era Poliisi egamba nti balina ekibinja ky’ababbi abaludde nga batigomya abantu mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo.

Okunoonyereza kulaga nti Ssetimba, Mugisha ne banaabwe abaliira ku nsiko mu kiseera kino balina ekibinja ky’abantu abasukka munaana (8) nga batambulira ku pikipiki ekika kya Bajaj boxers baakuba Omuyindi ekintu mu ffeesi ne batwala ensawo ya ssente (Euros 100,000) era baludde nga banoonyezebwa.

Omuyindi yatwala omusango ku Poliisi nga 10, Febwali, 2021 era Poliisi ya Flying Squad yatandikirawo okunoonyereza okutuusa Ssetimba ne Mugisha we bakwattiddwa.
Abakwate basangiddwa n’ebintu eby’enjawulo omuli ensawo z’abakyala, kaadi za ATM n’ebintu ebintu ebirala.

Poliisi egamba nti abakwate bakutwalibwa mu kkooti oluvanyuma lw’okunoonyereza.

Ate e Mityana, omubaka wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, (RDC) Herman Ssentongo alabudde abatuuze okubeera ku bwerinde n’okuyambako ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye okuzuula emmundu eyabiddwa.
Ssentongo agamba nti waliwo emmundu eyabiddwa mu disitulikiti y’e Kiboga era kiteeberezebwa y’emu ku mmundu ababbi gye bazzeemu okweyambisa okutigomya Mityana.

Mu bitundu bye Mityana okubba aba Mobile Money n’okuttibwa ssaako n’abantu babuligyo kuzzeemu nga n’akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, omukyala Kyerani Stanley Jurnior abadde amanyikiddwa nga Maria rose abadde omutuuze ku kyalo Busunju B mu Tawuni Kanso y’e Busunju mu disitulikiti y’e Mityana nga yakubiddwa amasasi ne batwala ebintu bye omuli ensawo ya Kompyuta ekika kya laptop, ssente shs 35000 n’essimu.

Mu kiseera kino Poliisi eri mu kunoonya abatemu abasse Nakibule wabula RDC Ssentongo agamba nti abatuuze okuyamba Poliisi okugiwa amawulire, kigenda kuyamba nnyo okuzuula emmundu eri mu mikono gy’abantu abakyamu mu kiseera kino mu kitundu kyabwe.