Poliisi ekutte basajja ba Bobi Wine babitebye mu bwangu, nsonga ya ntebe, buyinza n’okulaga amaanyi mu ntebe.

Poliisi ekutte abasukka 40 mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo ku bigambibwa nti basangiddwa nga bali mu kutekateeka okuteeka mu nkola omulanga gwa Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).

Kyagulanyi agamba nti yawangula entebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okuwedde nga 14, Janwali, 2021 nga bannansi balina okwekalakaasa mirembe okubanja obuwanguzi bwabwe okuva eri ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni.

Mungeri y’emu yagambye nti bakooye, okutwala abantu babuligyo mu kkooti z’amaggye, okusiba abantu olw’obutakaanya mu byobufuzi ssaako n’okusaba okuyimbula abantu bonna, abazze bakwatibwa.

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agamba nti mu kikwekweeto ekikoleddwa, abasukka 40 bakwattiddwa nga bagezaako, okunga abantu okubegattako okwekalakaasa.

Mungeri y’emu agambye nti abakwate essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti okwewozaako.

Ate entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Bulyango mu ggoombolola y’e Kisozi mu disitulikiti y’e Jinja, ssemaka Frank Waiswa myaka 30 bw’akutte ejjambiya natematema mukyala we Susan Nabwonso okutuusa lw’amusse.

Omulambo gw’omukyala gusangiddwa wansi w’ekitanda nga guzingiddwa mu ssuuka nga n’abaana okuli agenda okuweza ebbiri (2) n’emyaka mukaaga (6) baatemeddwa era nga bali mu mbeera mbi.

Abaana batwaliddwa mu ddwaaliro lya Nankandulo health center IV okufuna obujanjabi nga n’omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kamuli okwekebejjebwa.

Abamu ku batuuze bagamba nti, omusajja abadde alumiriza mukyala we, okwenda nga buli kiro yekunizza, okumulemesa okubaako kyakola mu nsonga z’omu kisenge.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga eyomambuka (North) Michael Kasadha, agamba nti ekyewunyisa n’omusajja asangiddwa nga yetuze era okunoonyereza kutandikiddewo.

Kasadha agamba nti omusajja okwetta asobodde okweyambisa akatimba k’ensiri, ekirese abatuuze nga basobeddwa.

Mungeri y’emu agamba nti, ebikolwa by’abantu okwetta nga kivudde ku butabanguko maka, byeyongedde mu kitundu kyabwe, kwe kusaba abafumbo okweyambisa ekitongole kyabwe ekya Poliisi oba abakulembeze ku byalo okuyambibwa singa bafuna obuzibu bwonna wakati waabwe.