Minisita Aceng abikudde ekyama ku mirimu gyonna okugulwawo, ssaawa yakuddamu kulya bulamu

Gavumenti esuubiza nti abantu basemberedde okuddamu okweyagala n’okutambuza obulamu nga bwe gwali olwa Minisitule y’ebyobulamu, okutandiika enkya ya leero, okugema abantu Covid-19.

Mu kiseera kino ebbaala zikyali nzigale, ebivvulu tebikirizibwa, ebifo nga ‘Beach’ bikyali biggale, abantu bakooye essaawa za Kafyu ssaako n’okubalemesa okungaana.

Wabula Minisita w’ebyobulamu Dr. Ruth Jane Aceng, agamba nti Uganda esemberedde okuta bannansi okuddamu okweyagala olw’okutandiika okugema Covid-19.

Minisita Aceng y’omu ku bakedde okufuna ddoozi y’eddagala esooka ku ddwaaliro ekkulu e Mulago era asigadde emirimu gye agitambuza bulungi.

Agamba nti okugema abantu kigenda kuyamba nnyo, eggwanga okwongera okwetekateeka abantu okubakkiriza okuddamu okutambula obulamu.

Eddoboozi lya Aceng

Olunnaku olwaleero, Minisitule etandikidde ku basawo ba Gavumenti nga ne ku ddwaaliro entebe, omulimu gutambudde bulungi ddala.

Wabula omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Diana Atwine, alambuludde entekateeka y’okugema abantu mu ggwanga lyonna nga bagenda kuzaako abasawo abali malwaliro g’obwannanyini, abasirikale, bannamawulire ssaako n’abantu abalala.

Mu kiseera kino Uganda yakazuula abantu 40,490 abalwadde ate yakafiisa abantu 334 ate abali ku bujanjabi bali bantu 25,081.

Ate Ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayingidde mu nsonga z’eggwanga erya Kenya, okuwera kasooli yenna okuva mu Uganda okuyingira mu nsi yabwe.

Embeera yayongedde okwonooneka ku wiikendi, Kenya bwe yatadde emisanvu e Kisumu ne Nakuru ne bayimiriza emmotoka eziwera 150 ezaabadde zitambuza kasooli ne baziwaliriza okudda mu Uganda

Kenya yagaanyi okuddamu okuyingiza kasooli yenna ava mu Uganda ne Tanzania nga bagamba nti tali ku mutindo. Bagamba nti kasooli wa Uganda alimu ekirungo ekyobulabe ekya ‘aflatoxin’ ekigambibwa okulwaza kookolo n’endwadde endala.

Okuwera kasooli kwegasse ku nnyama y’ente, enkoko n’amagi ebyasooka okugaanibwa okuyingizibwa mu Kenya mu January w’omwaka guno ogwa 2021.

Wabula akawungeezi ka leero mu Palamenti ebadde ekubirizibwa sipiika Rebecca Kadaga, Nampala wa Gavumenti Ruth Nankabirwa agamba nti Pulezidenti Museveni yasobodde okuwayamu ne mukulu munne, omukulembeze w’eggwanga erya Kenya Uhuru Kenyatta era okuteseganya kukyagenda mu maaso.

Nankabirwa agamba nti wadde bangi ku balimi ssaako n’abasuubuzi, bafiiriddwa ssente mpitirivu nnyo, ekya Palamenti okuteesa ku ky’okuva mu mukago gwa East Africa, bandibadde bakivaako wabula okuteesa ku ngeri y’okunyweza enkolagana.