MUTEMU OBA! Poliisi ezudde akapya ku mukyala kalitima eyakubye omwana oba nsonga ki?

Poliisi ezudde omukyala kalitima eyalabikidde mu katambi ku mikutu gya yintaneeti ng’aliko omwana gwe yabadde atulugunya.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omukyala kitegerekese nti ye Uwimana Patience myaka 25 nga mutuuze ku kyalo Kinoni-Kyangwe mu ggoombolola y’e Kyazanga TC mu disitulikiti y’e Lwengo.

Poliisi egamba nti omwana ye Ssebandeke Alfred myaka 5 era yakoseddwa nnyo.

Uwimana abadde yakava mu kkomera e Kisoro ku misango gy’okwagala okutta omuntu, era ekiraga nti mutemu

Enanga agamba nti ekitongole kyabwe ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya ekya Criminal Investifations Directorate (CID) kiragiddwa okunoonyereza mu bwangu omukyala akwattibwe mu bwangu abitebye wadde aliira ku nsiko mu kiseera kino.

Minisita we by’empuliziganya n’okulugamya eggwanga Judith Nabakooba naye yavuddeyo era yasabye abantu bonna okuvaayo okuyambako Poliisi okuzuula omukyala Uwimana.

Minisita Nabakooba agamba nti mu vidiyo omukyala yabadde ayogera Luganda, akabonero akalaga nti munnayuganda era agwanidde okubonerezebwa.

Kigambibwa wadde vidiyo yafulumiziddwa okuyambako Poliisi okuzuula Uwimana n’okukwattibwa, kigambibwa n’omuntu eyakutte vidiyo ayinza okukwattibwa kuba yalemereddwa okutaasa omwana.

Wadde Poliisi evuddeyo okunoonyereza, n’omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa nga Bebe Cool naye yavuddeyo okuyambako Poliisi mu kunoonya omukyala omutemu Uwimana.

Bebe Cool yataddewo ssente akakadde kamu (1,000,000) ku muntu yenna ayinza okuyamba Poliisi okukwata Uwimana.

Bebe Cool agamba nti kiswaza omukyala okukuba omwana mu ngeri bwetyo ate nga Uganda yakamala okwegatta ku nsi yonna okukuza olunnaku lw’abakyala.

Poliisi egamba nti bba w’omukyala Uwimana abadde yasaba dda Poliisi okumuyambako olwa mukyala we okutulugunya omwana ate nga tagabwako.

Wabula omukwanaganya wa Poliisi n’omuntu wabuligyo, AIGP Asan Kasingye agamba nti Poliisi egenda kukola kyonna ekisoboka okukwata Uwimana era agumizza eggwanga okuyambako ebitongole ebikuuma ddembe okubiwa amawulire ku nsonga zonna ezikwata ku Uwimana.

Kinajjukirwa nti mu 2014, eyali omukozi w’awaka Jolly Tumuhiirwe yakwattibwa akatambi ng’aliko omwana omuto gwe yali akuba mu ngeri y’okutulugunya.

Tumuhiirwe Poliisi yamukwata era yasindikibwa mu kkomera e Luzira okusibwa emyaka 4.

Okusinzira kw’alipoota ya Poliisi, buli mwaka abaana abasukka 15,00 batulugunyizibwa mu ngeri ez’enjawulo.