Bw’oba oli musajja mu ggwanga lino kigezeeko, Minisita Tumwine alabudde Bobi Wine ne banne ku ky’okutabangula eggwanga.

Minisita w’obutebenkevu Gen. Elly Tumwine agumizza bannayuganda okusigala ku mirimu gyabwe nga tewali muntu yenna, ayinza kutabangula eggwanga lino nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akyali mu ntebe.

Minisita Tumwine agamba nti ebigambo bya Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), okusaba bannayuganda okwekalakaasa mu mirembe, kugendereddwamu kutabangula ggwanga lino.

Kyagulanyi agamba nti yawangula obukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 14, Janwali, 2021 era yasabye bannayuganda okwekalakaasa mu mirembe okubanja obuwanguzi bwabwe.

Mungeri y’emu Kyagulanyi yagambye nti okuyimiriza eky’okutwala abantu babuligyo mu kkooti y’amaggye n’okuyimbula abantu bonna abazze bakwattibwa ebitongole ebikuuma ddembe, okwekalakaasa mu mirembe, kye kigenda okuyambako.

Kyagulanyi yagambye nti okuggya omusango mu kkooti ensukkulumu ogw’ebyokulonda ogutwala mu kkooti ya buligyo, bannayuganda balina okwekalakaasa mu mirembe okukomyawo obuyinza bwabwe.

Wabula Minisita Munnamaggye, Komando Gen. Elly Tumwine, agamba nti okwekalakaasa mu mirembe kigumaaza, kigendereddwamu kutabangula ggwanga lino era tebayinza kubakkiriza.

Gen. Tumwine agamba nti abamu ku baakwattiddwa wiiki eno nga batekateeka okwekalakaasa, basangiddwa ne jjambiya, ebyambe, ebipiira, ekiraga nti balina ekigendererwa okutabangula ggwanga.

Gen. Tumwine alabudde Kyagulanyi ne bannayuganda bonna abalina ekigendererwa okutabangula eggwanga okukyesonyiwa kuba tewali muntu yenna gwe bagenda kuttira ku liiso, abantu balina okudda ku mirimu gyabwe.

Mungeri y’emu alabudde abali mu kutambuza Kampeyini nti “Museveni tajja Kulayira”, okukiggya mu birowoozo byabwe nga kimenya amateeka, Museveni yawangula mu mateeka era tewali muntu yenna ayinza kumulemesa kulayira.

Ate mu kkooti, bannakibiina ki NUP 14, basimbiddwa mu kkooti ku Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Fediris Otwawo ku misango gy’okunga abantu okwekalakaasa ku Lwokubiri nga 9 omwezi guno.

Abakwate nga bakulembeddwamu munnamateeka waabwe Benjamin Katana begaanye emisango gyonna era omulamuzi Otwawo abasindise ku limanda mu kkomera e Kigo ne Kitalya okutuusa nga 23, March, 2021, kisobozese oludda oluwaabi okufundikira okunoonyereza.

Wabula Minisita Gen Tumwine agamba nti “bw’oba oli musajja ku ky’okutabangula eggwanga, kigezeeko”.