Bobi Wine bamuletedde bakkomanda e Kamwokya ku kitebe kya NUP, akwattiddwa abitebyeasabiddwa ‘yingira mukulu’.

Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akwattiddwa era atwaliddwa mu kifo ekitamanyiddwa.

Bobi Wine enkya ya leero akedde kwogerako eri bannakibiina ku kitebe e Kamwokya era ayogedde ku nsonga ez’enjawulo omuli n’okutwala okwemulugunya kwabwe ku bannayuganda abawagizi baabwe abazze bakwattibwa eri omuduumizi wamaggye mu ggwanga Gen. David Muhoozi, okubanja abantu abazze bakwatibwa amaggye.

Mu bbaluwa Kyagulanyi gy’abadde atwala eri Gen Muhoozi ne Minisita w’ebyokwerinda Adolf Mwesige abadde amuwandikidde, okuyimbula abantu be ate mu mwangu.

Kyagulanyi agamba nti offiisi ya Gen Muhoozi ya bannayuganda bonna nga tewali nsonga yonna lwaki omuntu yenna asooka kusaba lukusa okugenda mu offiisi ye.

Bobi Wine akwattiddwa

Mungeri y’emu agamba nti bakooye essaawa za Kafyu, nga Pulezidenti Museveni alina okugyawo Kafyu bannayuganda okuddamu okutambuza emirimu gyabwe. Bobi Wine agamba nti amakulu ka kafyu tegakyaliwo wabula okunyigiriza bannayuganda abali mu kutambuza emirimu gyabwe.
Kafyu yateekebwawo mu March, 2020 ng’emu ku ngeri y’okutangira ebikolobero omuli omubbi mu kiro wakati mu kulwanyisa Covid-19 mu ggwanga.

Oluvanyuma lw’okutegeeza bannakibiina ensonga z’okutwala ekiwandiiko eri Gen Muhoozi, Poliisi n’amaggye babadde beyongedde obungi ebweru ku kitebe kya NUP era Kyagulanyi olufulumye, akwattiddwa natwalibwa mu kifo ekitamanyiddwa mungeri ya ssebo yingira.

Abasirikale nga bakwata Bobi Wine

Wabula omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango agamba nti Kyagulanyi okulangirira okwekalakaasa okw’emirembe mu ggwanga okubanja obuwanguzi bwe, y’emu ku nsonga lwaki Poliisi erina okumutambulirako okunyweza ebyokwerinda.

Onyango agamba nti tewali muntu yenna ayinza kutabangula ggwanga era y’emu ku nsonga lwaki ebyokwerinda binywezeddwa.

Kyagulanyi agamba nti yawangula obwa ssentebe wa National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni mu kulonda kwa 14, Janwali, 2021 era balina okwekalakaasa mu mirembe okubanja obuwanguzi bwe mu bwangu.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande, yagambye nti tewali muntu yenna ayinza kutabangula ggwanga nga mu kiseera kino abantu balina kudda ku mirimu gyabwe.