Ssemaka akwattiddwa ng’asoboya ku mwana we myaka 10, ekirese abatuuze nga basobeddwa.

Poliisi ekutte ssemaka Umar Lubega Katula myaka 40 ku misango gy’okudda ku mwana we gwe yeezaalira okumusobyako.

Lubega, mutuuze ku kyalo Ntawo mu disitulikiti y’e Mukono yakwattiddwa ku by’okusobya ku mwana we myaka 10 nga yamufuula mukyala we buli kiro ateekeddwa okumukoseza.

Okusinzira ku Poliisi, Lubega abadde yeyambisa muwala we wakati wa December, 2020 n’omwezi guno Ogwokusatu, 2021.

Poliisi egamba nti Lubega yafuna obutakaanya ne bawukana ne mukyala we Nakiguli Suzan, kyokka omukyala yamugyeko omwana nga amusuubiza okumutwala essomero eddungi.

Wabula omwana agamba nti kitaawe yamusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna kyokka neyiba bwe yamutegezaako, yamuwa eddagala erigumya ebitundu by’ekyama ssaako n’okuggyawo obulumi mu kiseera ng’asobezebwako.

Wakati mu kulukusa amaziga, omwana agamba nti yatidde okutegeeza ku batuuze olw’okutya okuttibwa nga buli kiro, kitaawe abadde amutwala mu kisenge kye, okumusobyako n’okumuwa shs 500/= buli kiro, mu ngeri y’okumwebaza okusirikira ebyama.

Omwogezi w’ekitongole kya poliisi enoonyereza ku buzzi bw’emisango Charles Twine agamba nti taata akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto era Poliisi etandiise okunoonyereza.

Mungeri y’emu awanjagidde abatuuze okuyamba ku baana abato, okusinga okusirikira ensonga, ekiyinza okuviirako abaana okwekyawa ssaako n’okwetta.

Ate Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Bigga mu ggombolola y’e Kyesiiga mu disitulikiti y’e Masaka, omukyala Jane Lwegaba eyabuze olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, bw’azuuliddwa nga yattiddwa.

Lwegaba ali mu gy’obukulu 60 attiddwa mu ngeri ewuninkiriza abatuuze era omulambo gwe, guzuuliddwa enkya ya leero nga guyiriddwako omusenyu.

Wabula Mudashiru Bbaale, sipiika w’eggombolola y’e Kyesiiga agamba nti abatuuze bafunye akaseera akazibu, okutegeera nti Lwegaba eyattiddwa, abadde mutuuze munaabwe, olw’omulambo okusangibwako omusaayi.

Mungeri y’emu agambye nti omukyala, bamunyodde ensingo ne bamutta era mu kiseera ekyo, bba yabadde atambuddemu.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka Muhammad Nsubuga agambye nti Poliisi, etandiise okunoonyereza ku ngeri Lwegaba gye yagiddwa awaka ssaako ngeri gye yatiddwamu.

Bya Nalule Aminah