Ebbugumu mu Palamenti ya Uganda, abegwanyiza obwa sipiika beyongedde okuwaga n’okunoonya akalulu.

Ebbugumu lyeyongedde mu lw’okaano lw’abantu abesowoddeyo okuvuganya ku ky’omumyuka wa Sipiika wa Palamenti, Omubaka wa West Budama, munnamateeka Jacob Oboth Oboth bwa’sabye banne okuva mu kitundu kye Bukedi okumusosowaza ku banne ssaako n’okumulonda.

Okusinzira ku ssentebe w’ekibiina ekigata ababaka, okuva mu bitundu bye Bukedi Julius Maganda, balina ababaka ba Palamenti 31 abalondeddwa mu Palamenti ye 11 era baanirizza okusaba kwa munaabwe Jacob Oboth Oboth okwesimbawo era bamuwadde emikisa n’okumuteeramu essaala okuwangula eky’okumyuka sipiika.

Mu kitundu ekyo, era omubaka wa Palamenti Fox Odoi akiikirira abantu ba West Budama North, naye yesowoddeyo okuvuganya ku ky’okumyuka sipiika wa Palamenti.

Wabula ssentebe Maganda agambye nti Hon Odio tannaba kuvaayo kubanjulira entekateeka ze na lwaki yavuddeyo okwesimbawo.

Ate ye Hon Oboth agambye nti ebisanyizo byonna abirina era asukkulumye kw’abo, abegwanyiza eky’okumyuka sipiika mu Palamenti ya 2021-2026.

Agamba nti Palamenti yetaaga omuntu nga ye agenda okutambuza emirimu gya Palamenti n’okuyamba eggwanga wabula balina okwewala okufuna omuntu agenda okweyambisa ekifo okukuba ddiiru.

Ekifo eky’kumyuka Sipiika wa Palamenti kiriko abantu ab’enjawulo abakyegwanyiza okuli Omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko, Omubaka omukyala owa Bukedea Anita Among, Minisita omubeezi ow’ebyensimbi David Bahati, Ruhinda North Thomas Tayebwa,  Gomba West Robinah Rwakojo, Theodore Ssekikubo akikirira Lwemiyaga ssaako n’abantu abalala.

Ate ku kifo kya sipiika kuliko abantu 3 okuli Rebecca Kadaga ali mu ntebe, omumyuka we Jacob Oulanyah n’omwogezi wekibiina ki FDC era omubaka we Kira Monisipaali Ibrahim Ssemujju Nganda.

Ku nsonga y’okunoonya sipiika wa Palamenti, Nampala wa Gavumenti Ruth Nankabirwa agamba nti buli memba yenna mu kibiina ki National Resistance Movement (NRM) waddembe okwesimbawo.

Agamba nti lukiiko olufuzi olw’oku ntikko olwa Central Executive Committee-CEC lwakutuula okwekeneenya amannya g’abantu bonna abesimbyewo.

Mungeri y’emu agambye nti waliwo entekateeka ababaka ba NRM bonna abaakalondebwa okutwalibwa e kyankwanzi okukkaanya ku nsonga ya sipiika wa Palamenti.

Wabula bangi ku babaka ba Palamenti bagamba nti Kadaga akoze bulungi era wadde alina abantu babiri (2) abegwanyiza obwa sipiika, tewali ayinza kumuwangula kuba ayimiriddewo nnyo mu kulwanirira ekitiibwa kya Palamenti.