Mukomye obulimba, Lissu ayogedde ekyasse Magufuli ekituufu, bannansi basigadde basobeddwa.

Akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu ggwanga erya Tanzania Tundu Lissu asambaze ebyogerwa nti abadde omukulembeze w’eggwanga erya Tanzania John Magufuli okufa kwe kyavudde ku mutima okufuna obuzibu.

Lissu ng’ali mu ggwanga erya Belgium, agamba nti Magufuli abadde mulwadde nnyo, okuva ku ntandikwa y’omwezi guno Ogwokusatu era y’emu ku nsonga lwaki yavaayo nga 7 omwezi guno, okusaba Gavumenti okunyonyola ku bulamu bwa Magufuli.

Lissu agamba nti mikwano gye mu Gavumenti, gigamba nti Magufuli yafudde Covid-19 kyokka kyewunyisa Gavumenti okwongera okulimba eggwanga nti yafudde ndwadde ya mutima.

Mungeri y’emu agamba nti Magufuli yafudde Covid-19 tewali kubusabuusa kwonna ate teyafudde kawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, abadde yafa dda.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, amyuka omukulembeze w’eggwanga Tanzania Samia Suluhu Hassan, yasobodde okutegeeza eggwanga mu butongole nti Magufuli afudde kyokka yagambye nti okufa kwe kyavudde ku mutima okufuna obuzibu mu ddwaaliro gye yabadde mu kibuga Dar es Salaam.

Mu Tanzania, bangi ku bannansi baludde nga bebuuza Magufuli gyali, oluvanyuma lwa sabiiti bbiri (2) nga talabikako.

Agenze okufa, nga waliwo bannansi abasukka 10 abaakwattiddwa ku misango gy’okutambuza amawulire ag’obulimba nti Magufuli mulwadde wa Covid-19 era mbu yabadde mu mbeera mbi.

Sabiiti ewedde ku lunnaku Olwokutaano, Ssabaminisita wa Tanzania Kassim Majaliwa yetegeeza nti Magufuli ali mu mbeera nungi nnyo si mulwadde era ali mu offiisi ye, atambuza mirimu gye.

Majaliwa bwe yali ayogerako eri abantu oluvanyuma lw’okusaala mu muzikiti omukulu mu bitundu bye Njombe mu maserengeta ga Tanzania, yagamba Magufuli abadde alina emirimu mingi nnyo ng’alina okuba mu offiisi okugikola kyokka ali mu mbeera nungi.

Ebigambo bye, y’emu ku nsonga lwaki ebitongole ebikuuma ddembe byayongera amaanyi, okulabula bannansi ku ky’okutambuza amawulire ag’obulimba ku nsonga za Magufuli.

Okufa kwa Magufuli, omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni agambye nti East Africa efiiriddwa nnyo omusajja abadde akoze ennyo okutumbula enkolagana mu East Africa n’okutumbula ebyenfuna.

Ate omukulembeze w’eggwanga erya Kenya, Uhuru Kenyatta agamba nti Magufuli abadde akoze bulungi nnyo mu kutumbula enkolagana mu East Africa.

Kenyatta nga mu kiseera kino ye ssentebe w’omukago gw’amawanga agali mu East Africa, alangiridde ennaku 7 ez’okungubaga mu East Africa yonna.

Mu nnaku 7 bendera za East Africa ssaako n’amawanga zirina kwewuubira mu makkati g’emirongooti.