Pulezidenti Hassan Samia afulumizza entekateeka z’okuziika John Magufuli.

Omukyala Samia Suluhu Hassan alayiziddwa ng’omukulembeze w’eggwanga erya Tanzania ku mikolo egibadde mu State House mu kibuga Dar es Salaam.

Emikolo gikulembeddwamu Ssaabalamuzi Ibrahim Juma era mu byafaayo by’eggwanga erya Tanzania, Samia ye mukyala asoose okulembera eggwanga eryo.

Samia yabadde amyuka omukulembeze w’eggwanga eryo John Pombe Magufuli eyafudde akawungeezi k’olunnaku Olwokusatu endwadde z’omutima.

Abadde mu offiisi, ng’amyuka omukulembeze w’eggwanga okuva mu 2015.

Samia olumaze okulayizibwa ng’omukulembeze w’eggwanga, alangiridde ku Lwokuna nga 25, sabiiti ejja omwezi guno Ogwokusatu, okuziika Magufuli.

Samia Suluhu Hassan alayiziddwa ku bwa Pulezidenti

Magufuli agenda kuziikibwa mu kyalo kye Chato era Samia era agambye nti ku Lwokuna lwa kuwumula mu ggwanga lyonna.

Okusinzira ku ntekateeka, ku Ssande nga 21, March, 2021 omulambo gwa Magufuli, gwakutwalibwa mu kisaawe kye Uhuru mu kibuga Dar es Salaam, abantu okumukubako eriiso evannyuma.

Ate ku Mmande, Omulambo gugenda kutwalibwa mu kibuga Dodoma, abantu okuddamu, omukubako eriiso evannyuma era Gavumenti erangiridde nti lunnaku lwa kuwumula.

Mu ngeri y’emu, omulambo gwakutwalibwako ne mu kibuga kye Mwaza gye gunagibwa okutwalibwa gye bagenda okumuziika ku kyalo Chato.

Newankubadde Pulezidenti omuggya Samia alangiridde nti Magufuli wakuziikibwa sabiiti ejja ku Lwokuna, bannansi baakusigala nga bakungubaga okumalayo ennaku 14.

Okufa kwa Magufuli, Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni yagambye nti East Africa efiiriddwa nnyo omusajja abadde akoze ennyo okutumbula enkolagana mu East Africa n’okutumbula ebyenfuna.
Ate omukulembeze w’eggwanga erya Kenya, Uhuru Kenyatta agamba nti Magufuli abadde akoze bulungi nnyo mu kutumbula enkolagana mu East Africa.
Kenyatta nga mu kiseera kino ye ssentebe w’omukago gw’amawanga agali mu East Africa, yalangiridde ennaku 7 ez’okungubaga mu East Africa yonna.
Mu nnaku 7 bendera za East Africa ssaako n’amawanga zirina kwewuubira mu makkati g’emirongooti.