Iryn Namubiru ali mu ssannyu kuba agudde mu bintu era kino kye bayita okulonda ekyapa mu mannya go.
Omuyimbi Irene Gladys Namubiru amanyikiddwa nga Iryn Namubiru agudde mu bintu era bangi ku bannayuganda basigadde bawuninkiridde nga bagamba nti omwana alina omukisa.
Sabiiti eno, ekimu ku kibiina ekisinga amaanyi mu nsonga z’abayimbi ekya Master’s Music, kyalangiridde nti Iryn y’omu ku bayimbi abali mu kibiina kyabwe.
Aba Master’s Music nga basinzira ku kitebe kyabwe e Ntinda, basinzidde ku mukolo, okulangirira nti Iryn asayiningiddwa mu kibiina kyabwe.
Iryn bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire, yagambye nti, “mpulira bulungi nnyo okuteeka omukono ku ndagaano, okukolagana n’aba Master’s Music mu kutumbula ekisaawe ky’okuyimba”.
Iryn Namubiru mu ngeri y’emu agambye nti, “omuyimbi yenna wadde akuliride mu myaka, asobola bulungi nnyo okusigala ng’ayimba kuba okuyimba tekulinga mupiira nti kwetaaga amaanyi mangi”.
Iryn yazaalibwa nga 13, December, 1981 mu kiseera kino alina emyaka 39 era ezimu ku nnyimba ezimufudde ensonga n’omuntu ow’enjawulo mu kisaawe ky’okuyimba mwe muli Byokola, Tebiba Bingi, Mpulira, Kabi ki, Nsonyiwa, Makanika, Anjagala, Nsula Wuwo, Birowoozo n’endala.
Mu Master’s Music, waliwo abayimbi abalala abasayiningiddwa omuli Kin Bella ne King Solomon nga bona bayimbi bato mu kisaawe ky’okuyimba.

Ate omuyimbi John Blaq awadde ezimu ku nsonga ze lwaki yayimbye n’abayimbi omuli David Lutalo ssaako ne Chris Evans.
Blaq ne Lutalo balina Kolabo ‘Tokutula’ ate ne Evans balina ‘Sitidde’ era bangi ku bannayuganda babadde bebuuza ekyawalirizza John Blaq okwegata ne Lutalo ssaako ne Evans.
Blaq agamba nti wadde naye muyimbi ayimba bulungi, takkiriza okuyimba ne Lutalo ssaako ne Evans kuba mu Uganda bebamu ku bayimbi abasinga okuyimba obulungi.
Mungeri y’emu Blaq yebazizza Lutalo ne Evans okukkiriza okumuwa omukisa okuyimbako nabo.
Ezimu ku nnyimba ezifudde John Blaq omuyimbi ow’enjawulo mwe muli Do Dat, Obubadi, Maama Bulamu, Ebyalagirwa, Makanika, Romantic, Sweet Love, Replace Me, Tewelumya Mutwe n’endala.
Blaq agamba nti Uganda erina talenti ez’enjawulo era wadde yafulumiza Kolabo ne Lutalo ssaako ne Evans, akyalina okukola kolabo n’abayimbi ab’enjawulo.