Bobi Wine alemeddeko, ayongedde okunyiga Ssaabalamuzi Owinyi Dollo, lekulira mu bwangu ku lw’obulungi bw’eggwanga era agambye nti ssebo ‘tuviire’.
Akulira ekibiina ky’ebyobufuzi ki National Unity Platform-NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ayagala Ssaabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo alekulire mu bwangu olw’okulemererwa okussa ekitiibwa mu kirayiro kyeyakuba nga akwasibwa entebe ey’obwa Ssaabalamuzi mu ggwanga okudda mu bigere bya Bart Magunda Katureebe.
Kyagulanyi agamba nti ekitongole ekitwala abalamuzi mu Ggwanga kisaanye okwekenneenya enneeyisa ya Ssaabalamuzi Owinyi Dollo kubanga ebavumaganya ekitongole ekiramuzi ne ggwanga lyonna.
Kino akisimbulizza ku mbeera eyabadde ku kkooti olunaku ku lunnaku Lwokuna eyaviiriddeko abalamuzi munaana (8) okuyisaamu amaaso omulamuzi Esther Kisaakye ne Ssaabalamuzi Owinyi Dollo okuwamba fayiro ye.
Kyagulanyi agamba nti ebigenda mu maaso mu ggwanga biraga nti kkooti ensukkulumu erimu kibuyaga era y’emu ku nsonga lwaki yaggyayo omusango mu kkooti ogw’ebyokulonda nga tasuubirayo mazima na bwenkanya era agamba nti ye ssaawa Ssaabalamuzi Owinyi Dollo akole ki, ‘tuviire’.
Fayiro y’omulamuzi Kisaakye eyatwaliddwa, yabaddemu ensala ye ku kya Ssaabalamuzi Owinyi Dollo okuva mu musango gwa Kyagulanyi ogw’ebyokulonda kyokka agamba nti Ssaabalamuzi yalagidde etwalibwe mu ngeri emenya amateeka.
Mu kkooti, munnamateeka Male Mabirizi yali yasaba Ssaabalamuzi Owinyi Dollo okuva mu musango gwa Kyagulanyi era ezimu ku nsonga ze agamba nti mu 2006, Owinyi Dollo yali munnamateeka wa ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni, munna Forum for Democratic Change (FDC) Dr. Kizza Besigye bwe yali addukidde mu kkooti okuwakanya obuwanguzi bwe ku bwa Pulezidenti.
Nga tukyali mu kkooti, ekitongole ekiramuuzi mu ggwanga kigumiza bannayuganda nti omwaka oguggya waliwo essuubi nti omuwendo gw’abalamuzi mu ggwanga gwakweyongerako kiyambeko okukendeeza ku misango egyetuumye mu kkooti naddala ku nsonga z’ettaka.
Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ekiramuzi Jamson Kareman, okulwawo kw’emisango gy’ettaka mu kkooti kiviiriddeko bannayuganda bangi okugamba nti abalamuzi balwisawo emisango gino okwagala okulya enguzi.
Ate ku misango gy’okulonda okuwedde ogwa 2021, Kareman agamba nti kkooti yafunye emisango 11 mu Kampala n’emirirwano nga bawakanya ebyava mu kulonda kwa babaka ba Palamenti.
Egimu ku misango mwe muli ogwa Fred Nyanzi ng’awakanya obuwanguzi bwa Muhammad Nsereko mu Kampala Central, ogwa Muhammad Ssegirinya owa National Unity Platform (NUP) e Kawempe North nga Sulaiman Kidandala awakanya obuyigirize bwe.