Olutalo e Buziga lweyongedde, Nabirah yesibidde mu nnyumba, Poliisi eyiiriddwa, anti amaziga!

Poliisi eyungudde abawanvu n’abampi okunyweza ebyokwerinda n’okutangira okuyuwa omusaayi, wakati Nagayi Nabirah Ssempala, omubaka omukyala owa Kampala ssaako ne bba gwe yali asinga okususuuta Isaac Ssempala Sebaggala.

Nabirah akawungeezi ka leero nga yegatiddwako bakanyama, yesibidde mu maka gaabwe agasangibwa mu zzooni ya Mude ku luguudo lwe Katuuso e Buziga e Makindye mu Kampala.

Agamba ensonga ziri mu kkooti era yakkiriziddwa okusigala mu makaage okutuusa mu April, 2021 newankubadde bba Ssempala agamba nti Nabirah kkooti yamugaanye okudda mu makaage.

Obutakaanya wakati wa Nabirah ne bba, buzingiramu Polof. Venansius Baryamureeba, eyali akulira yunivaasite y’e Makerere.

Nagayi Nabirah Ssempala ne Isaac Ssempala Sebaggala

Polof. Baryamureeba agamba nti yawola Nabirah ne bba Ssempala obukadde obusukka mu 800 ne balemwa okuzaayo ensimbi, nga y’emu ku nsonga lwaki alina okutwala amaka okwesasula ssente ze.

Wabula Famire ya Ssempala egamba nti Baryamureeba yagaanza Nabirah era bali mu laavu nga tebayinza kumukkiriza kutwala maka n’omukyala.

Mu kiseera kino, ebyokwerinda byongedde okunywezebwa nga Ssempala aleese abasala ebyuma, okusala oluggi okugyayo Nabirah mu nnyumba.

Okusinzira ku lupapula lwa Bukedde, omusango guno Nabilah gwe yatutte mu kkooti y’e Makindye ne gukwasibwa Omulamuzi Lorna Patience Tukundane, gwongedde obunkenke awaka.

Baganda ba Haji Nasser Ntege Sebaggala (mukulu wa Ssempala) abaabadde bali

mu nteeseganya okutabaganya Nabilah ne bba nabo amaanyi gaabaweddemu nga bakitegedde nti Nabilah atutte omusango mu kkooti okugoba bba awaka.

Mu musango guno, Nabilah yategeezezza kkooti nti bba yava awaka mu 2013 era bamaze ebbanga lya myaka munaana nga tebabeera bonna.

Yagasseeko nti oluvanyuma bba yakomawo mu maka gaabwe e Katuso Buziga era yakozesa eryanyi n’ayingira mu nnyumba.

Nabilah alumiriza nti Ssempala olwatuuka mu nnyumba n’atandika okubakuba ne bakulukusa amaziga era bonna abasatu nti yabatuusaako ebisago.

Nabilah era agamba nti bba azze amutulugunya era yamukuba empi mu maaso g’abalonzi bwe yali ayigga akalulu k’obwa Loodi meeya wa Kampala.

Mu kalulu akaakubwa nga January 20, 2021, Nabilah eyali avuganyiza ku kkaadi ya NUP yakwata ekifo kyakubiri ng’afunye obululu 60,082 era Lukwago owa FDC ye yawangula n’obululu 194,592 ate Dan Kazibwe (Ragga Dee) owa NRM n’akwata ekyokusatu n’obululu 23,388.

Omusango guno Nabilah yagututte mu kkooti e Makindye nga 4, March, 2021.

Kkooti yawulirizza okusaba kwa Nabila n’eyisa ekiragiro ekigaana Ssempala okudda mu maka gaabwe okutuusa nga April 6, 2021 nga bamaze okuwulira omusango gw’obutabanguko mu maka Nabilah gwe yagguddewo.

Mungeri y’emu kkooti yalagira  Ssempala okuteekayo okwewozaako kwe obutasukka nga March 19, 2021, annyonyole kkooti ku nsonga ze bamulumiriza era okwo kkooti kw’eneesigama okumenyawo ekiragiro ekyo oba okukirekawo.

Kigambibwa nti akakuubagano wakati wa Ssempala ne Baryamureeba kaatandika mu 2010 wabula kaasajjuse ku ntandikwa y’omwaka guno era Ssempala n’atwala omusango ku poliisi y’e Kabalagala ng’alumiriza Baryamureeba okumulumba mu makaage, okumutusaako obuzibu era kati waliwo okutya anti amaziga essaawa yonna gayinza okulukuta.

Ekifaananyi kya Bukedde