Kadaga akooye okusirikira ebyama bya Jacob Oulanyah, abyogedde mu lwatu enkya ya leero.

Omubaka omukyala owe Kamuli Rebecca Alitwala Kadaga azzeemu okutongoza Kampeyini ze, okuddamu okwesimbawo ku kya sipiika wa Palamenti mu Palamenti y’e 11 eyalondeddwa mu kulonda okuwedde nga 14, Janwali, 2021.

Kadaga bw’abadde atongozza Kampeyini ze e Munyonyo, agambye nti, yewunya abagamba nti mutitiiza ku nsonga z’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM).

Agamba nti mu kuggya ekkomo ku myaka gy’omuntu yenna eyegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino, omumyuka we Jacob Aulanyah yatya, okukubiriza Palamenti, nga yamukubira essimu, okuggya okumutaasa ku nsonga ezo.

Kadaga agamba nti yali mu ggwanga erya America, kwe kufuna essimu okuva eri Aulanyah, okuyamba okudda mu Uganda, nga tasobola kubirizza Palamenti ku nsonga y’okuggya ekkomo ku myaka.

Mu ngeri y’emu ayongedde okkolokota Oulanyah, bw’ategezeza, nti emirundi mingi abadde yebalama okukubiriza Palamenti omwaka mulamba oguyise era omuntu bwatyo, tagwanidde kulembera Palamenti wadde abantu okumwesiga.

Mu kiseera kino abantu abalala abegwanyiza obwa sipiika bwa Palamenti kuliko Jacob Oulanyah myaka 56 abadde amyuka sipiika Kadaga, Ibrahim Ssemujju Nganda myaka 47, omubaka we Kira, omwogezi w’ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) ate Nampala w’oludda oluvuganya mu Palamenti ssaako ne Richard Ssebamala owa Democratic Party (DP) eyawangudde Edward Kiwanuka Ssekandi e Bukoto Central.

Kadaga myaka 64 agamba nti ye muntu omutuufu agwanidde obwa sipiika wa Palamenti era singa addamu okulondebwa, aba alondeddwa ekisanja eky’okusatu.

Ssemujju agamba nti singa afuna omukisa okulondebwa nga sipiika wa Palamenti, agenda kukola ebintu bingi nnyo omuli okulwana okukomyawo ekitiibwa kya Palamenti.

Agamba nti bangi ku bannayuganda, Palamenti bagitwala ng’ekifo abantu gye bagenda okukutula ddiiru era singa afuna omukisa okufuna obwa Sipiika, alina okukola kyonna okukomyawo ekitiibwa ekigwanidde.

Ababaka ba Palamenti abalonde balina okulayira mu Mayi, 2021 era oluvanyuma lw’okulayira, balina okulonda sipiika wa Palamenti mu bwangu.

Mu kiseera kino Kampeyini z’abantu abegwanyiza obwa sipiika n’okumyuka sipiika zigenda mu maaso ku Palamenti ssaako n’okusisinkana ababaka abalonde.