Waliwo omusajja eyakwattiddwa, agambibwa nti abadde mukozi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga lino ku misango gy’okunyaga ensimbi z’abakozi.
Ismal Kivumbi myaka 37 nga mukozi mu State House e Nakasero yakwattiddwa era akawungeezi ka leero, asimbiddwa mu kkooti ya Buganda Raod mu maaso g’omulamuzi Marion Mangeni ku misango gy’obubbi.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 25, omwezi oguwedde Ogwokubiri, e Nakasero mu Kampala, Kivumbi yabba obukadde 30, obwali bulina okweyambisibwa okufunira abakozi emmere.
Mu kkooti, Kivumbi yegaanye emisango gyonna era omulamuzi amusindise ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 6, omwezi ogujja Ogwokuna.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ivan Kyazze lutegezezza kkooti nti bakyanoonyereza.
Kigambibwa Kivumbi yakwattibwa sabiiti ewedde ku Ssande, akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga lino era okuva sabiiti ewedde, abadde mu kaduukulu ka Poliisi.