Kadaga atabuse ku nkwe za State House, alangiridde olutalo.

Omubaka omukyala omulonde owe Kamuli  Rebecca Alitwala Kadaga myaka 64 atabukidde omuwabuzi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga z’ebyokwerinda Lieutenant General, Proscovia Nalweyiso myaka 66 ne Nampala wa Gavumenti Ruth Nankabirwa myaka 55 ku ky’okweyambisa State House okumulwanyisa ku kya Sipiika.

Lieutenant General, Proscovia Nalweyiso

Kadaga akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo yatoongoza okuddamu okwesimbawo ku kya Sipiika wa Palamenti, mu Palamenti empya egenda okulayira mu May, 2021 era singa alondebwa, wakuddamu okutuula mu ntebe nga sipiika ekisanja eky’okusatu (3).

Wabula Kadaga abotodde ekyama ekya Nalweyiso ne Nankabirwa okweyambisa essimu ya State House okutegeeza ababaka ba Palamenti abalonde nti betaagibwa mu State House ku nsonga ya sipiika.

Kadaga alabudde abantu abo, okukomya okwerimbika mu State House okumulwanyisa ku kya sipiika kuba ne Pulezidenti Museveni asobola bulungi okuvaayo, okuyita abantu beyetaaga mu State House.

Mu kiseera kino abantu abalala abegwanyiza obwa sipiika bwa Palamenti kuliko Jacob Oulanyah myaka 56 abadde amyuka sipiika Kadaga, Ibrahim Ssemujju Nganda myaka 47, omubaka we Kira, omwogezi w’ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) ate Nampala w’oludda oluvuganya mu Palamenti ssaako ne Richard Ssebamala owa Democratic Party (DP) eyawangudde Edward Kiwanuka Ssekandi e Bukoto Central.

Ruth Nankabirwa

Kigambibwa Nankabirwa ayagala Jacob Oulanyah okuwangula obwa sipiika bwa Palamenti kuba ye muntu omutuufu agenda okuyamba ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) okutuukiriza ebigendererwa byabwe.

Olunnaku olw’eggulo, Kadaga yawadde ezimu ku nsonga lwaki Oulanyah tagwanidde kulondebwa ku bwa sipiika bwa Palamenti.

Yagambye nti mu kuggya ekkomo ku myaka gy’omuntu yenna eyegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino, Aulanyah yatya, okukubiriza Palamenti, nga yamukubira essimu, okuggya okumutaasa ku nsonga ezo.

Sipiika Kadaga yagambye nti yali mu ggwanga erya America, kwe kufuna essimu okuva eri Aulanyah, okuyamba okudda mu Uganda, nga tasobola kubirizza Palamenti ku nsonga y’okuggya ekkomo ku myaka.

Mungeri y’emu yagambye nti emirundi mingi abadde yebalama okukubiriza Palamenti omwaka mulamba oguyise era omuntu bwatyo, tagwanidde kulembera Palamenti wadde abantu okumwesiga.

Kadaga alameddeko ku nkwe eziri mu State House.

For more news check out : https://www.facebook.com/GalaxyFm1002