Odonga Otto asindikiddwa mu kkomera, kituufu omukyala okulya obuwuka?
Omubaka we Aruu County mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Samuel Odonga Otto asindikiddwa ku Limanda enkya ya leero.
Otto asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu disitulikiti y’e Pader Edward Akwankwasa ku misango gy’okulumya omuntu ssaako n’okwonoona ebintu bye.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Thomson Epia nga 6, Ogwokutaano, 2018, Otto yakoona endabirwamu y’emmotoka ekika kya Fusa namba UAR 234C najaasa.
Mungeri y’emu Otto yatiisatiisa nannyini mmotoka Henry Mugisha kyokka mu kkooti emisango gyonna agyegaanye.
Oludda oluwaabi lugamba nti lukomekereza okunoonyereza era Otto asindikiddwa ku limanda okutuusa nga 6 omwezi ogujja Ogwokuna, 2021.
Mu kkooti, omulamuzi Akwankwasa agobye okusaba kwa Otto okweyimirirwa olunnaku olwaleero era asabye bannamateeka be, okuddamu okuteekayo okusaba kwe nga 6, omwezi ogujja Ogwokuna, ku lunnaku lw’alina okudda mu kkooti.
Oluvudde mu kkooti, Kabiite wa Otto, Juliet Otto abadde munyivu ddala era agambye nti kawukuumi, ayingidde mu kitongole ekiramuzi, nga kitandiise okukozesebwa.
Juliet Otto agambye nti omulamuzi akoze nsobi okulemesa bbaawe Otto okweyimirirwa.
Ate amyuka akulira ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango Francis Olugu agambye nti Otto wadde asindikiddwa ku limanda, bakyamunoonyerezaako ku misango gy’okuba n’emmundu mu ngeri emenya amateeka.
Olugu agamba nti Otto yalemwa okuzza layisinsi ye obuggya emukkiriza okuba n’emmundu, ekintu ekimenya amateeka.
Wadde Odonga Otto asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Gulu, omulamuzi Akwankwasa alagidde bamusookeze mu ddwaaliro ekkulu e Gulu, okumwekebejja Covid-19.
Omukadde myaka 60 Peter Bahama omutuuze ku kyalo Rwenfunjo mu ggoombolola y’e Rwetango Masha mu disitulikiti y’e Isingiro yesse n’abaana babiri mu nnyumba nga yekumyeko omuliro.
Abaana abattiddwa kuliko Joshua Tumushabe 10 ne Shallon Nabasa 7 ate jjajjaabwe Annah Kiryabaho asigadde ali mu mbeera mbi.
Samson Kasasira, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi agamba nti mu kiro ekikeseza olwaleero Bahama myaka 60 alumbye amaka ga Kiryabaho naamutema emirundi egy’enjawulo ku mutwe nga yeyambisa ejjambiya.
Kasasira agamba nti Bahama abadde alowooza Kiryabaho amusse, kwe kutwala abazukkulu mu nnyumba ye, nagikumako omuliro era bonna bafiiriddemu.
Poliisi egamba nti etandiise okunoonyereza.
Okumanya ebisingawo, https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/444198303504157