Omwana myaka 15 awonye okusula ku kyokya, sseduvuto akwattiddwa.

Poliisi ekutte abantu munaana (8) mu disitulikiti y’e Amuru lwa kufumbiza omuwala omuto myaka 15 ku musajja myaka 33.

Abakwattiddwa kuliko sseduvuto omugole omusajja Charles Ojok n’omuwala omugole myaka 15, omuyizi ku Oloyotong Primary School mu disitulikiti y’e Amuru mu kibiina eky’omukaaga (P6), omugole omukyala amannya gasirikiddwa kuba akyali mwana muto.

Abalala abali mu kkomera mwe muli Eveline Aciro, maama w’omwana omuwala ne Kojja w’omuwala Nyeko Abuja, kojja w’omugole omusajja John Okwir, Elnato Kibwota, Joseph Komakech, Wilberforce Okwonga ate abalala baliira ku nsiko mu kiseera kino nga badduse oluvanyuma lwa Poliisi okutuuka ku mukolo gw’okwanjula.

akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga nga 27, March, 2021 ku kyalo Oloyotong mu muluka gwe Ogungedi mu ggoombolola y’e Amuru.

Wabula ssentebe wa disitulikiti y’e Amuru Michael Lakony, agamba nti yafunye okutegeezebwako nti waliwo omwana omuto abazadde gwe baabadde bafumbiza, Poliisi kwe kuyingira mu nsonga ezo.

Abakwate bali ku Poliisi y’e Otwee Police Station mu Tawuni Kanso y’e Otwee.

Apollo Okello, omuwandiisi wa disitulikiti ku byenjigiriza agamba nti omuwala kituufu abadde ku P6 ku Oloyotong Primary School era abadde abeera ne Kojjaawe.

Okello era agamba nti abaana abato okufuna embutto n’okufumbirwa ku myaka emito kweyongedde mu disitulikiti nga kivudde ku bazadde okulemererwa okukuza obulungi abaana.

Ate mu disitulikiti y’e Bundibugyo, Poliisi ekutte omukyala ku misango gy’okutta bba abadde mu myaka 18.

Omukwate amannya gasirikiddwa Poliisi kuba kiyinza okutaataganya okunoonyereza, yasse Edson Bwambale myaka 18 olw’obutakaanya mu maka.

Omukyala n’omugenzi Bwambale babadde batuuze ku kyalo Kithoma III mu ggoombolola y’e Burondo.

Swamadu Bwamabale, ssentebe w’ekyalo agamba nti okulwanagana kwabaddewo akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande era Bwambale yasangiddwa ng’ali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’okulwanagana era yafudde bakatuuka mu ddwaaliro.

Ssentebe Bwamabale agamba nti bazudde ekiwandiiko ng’omugenzi abadde ali mu kutya nti essaawa yonna omukyala abadde yamulabula dda okumutta.

ASP Aggrey Okumu, addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Bundibugyo agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza kyokka ebiriwo biraga nti omusajja yafudde nga kivudde kulwanagana.

Omulambo gwa Bwambale gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Bundibugyo okwekebejjebwa.

Okumanya ebifa mu ggwanga ebirala https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/186472053076480