Mu nsi y’omukwano, okusinda omukwano y’emu ku mpagi eyamba okuyimirizaawo omukwano mu baagalana naye obadde okimanyi ki abantu bangi bafuna obuzibu nga bali mu kaboozi omuli okulumwa?

Okusinzira ku Ssenga Kawomera, omukugu mu nsonga z’omukwano buli muntu ku nsi, alina obuzibu bwe mu nsonga z’omu kisenge kyokka buli muntu alina okunoonya amagezi ku ngeri y’okubirwanyisa.

Ssenga Kawomera olunnaku olwaleero, atuwadde ezimu ku nsonga eziyinza okuviirako omuwala yenna okulumwa ng’ali mu kaboozi.

Ssenga Kawomera agamba nti mukyala yenna talina kulumwa ng’ali mu kaboozi era singa kibaawo, kabonero akalaga nti waliwo ekitali kituufu.

Emyaka!

Ssenga Kawomera agamba nti waliwo abawala abato n’okusingira ddala wakati w’emyaka 15 ku 18 abatera okunyumya akaboozi ku myaka emito n’abasajja abakulu. Agamba nti singa omuwala omuto yegatta n’omuntu omukulu, ebitundu by’ekyama biyinza okumuluma kuba bibeera bikyala bito. Agamba singa omuwala afuna omusajja ow’emyaka gye, ayinza obutafuna bulumi bwonna.

Mungeri y’emu awadde abawala amagezi, okwewala okwegatta ku myaka emito kuba ssi kirungi.

Okulemwa Okwetekateeka!

Ebintu by’omu kisenge, omusajja alina okutekateeka omukyala obulungi era kiyambako omukyala okwetegekera okusinda omukwano. Ssenga Kawomera agamba nti waliwo abasajja abalina amaddu nga tebalina budde kutekateeka mukyala, okumunoonya obulungi. Agamba nti singa omusajja ayingira omukyala nga teyetegese bulungi, omukyala ayinza okulumwa wakati mu kwegatta. Kawomera agamba nti singa omusajja anoonya bulungi omukyala, tewali mbeera yonna eyinza kuviirako kulumwa.

Endwadde!

Ssenga Kawomera agamba nti waliwo endwadde n’okusingira ddala endwadde z’obukaba omuli Kabotoongo, eziyinza okuviirako omukyala yenna okulumwa mu kiseera ky’okwegatta.

Agamba nti singa omukyala alumwa, gwe ng’omusajja, olina okuyambako omukyala okuzuula kwe kivudde kuba tayinza kunyumirwa, ekiyinza okuvaako okwetamwa okwegatta.

Okukaanya!

Omukyala yenna okunyumirwa akaboozi, alina okukkiriza okwegatta n’omusajja. Ssenga Kawomera agamba nti wadde oli mu laavu n’omukyala, singa agaana okwegatta n’omukaka, ayinza okulumwa kuba aba teyetegese bulungi.

Kale Ssenga Kawomera agamba nti mu kaboozi, mwena mulina kunyumirwa, okulumwa kwonna, kabonero akalaga nti waliwo obuzibu era sikirungi mu mukwano.

Okumanya ebifa mu ggwanga ebirala https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/186472053076480