Poliisi egudde mu lukwe nti waliwo abayimbi abategese okwekalakaasa sabiiti eno ku lunnaku Olwokusatu mu Kampala.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, okwekalakaasa kuli mu National Theatre mu Kampala ng’abayimbi, bagamba nti ye ssaawa, Gavumenti okubakkiriza okuddamu okutekateeka ebivvulu.
Abayimbi bagamba nti bakooye embeera embi wakati mu kulwanyisa Covid-19, nga betaaga ssente okufuna eky’okulya, okupangisa amayumba ssaako n’okutambuza obulamu.

Abamu bagamba nti Gavumenti eremeddwa okubayamba okufuna ensimbi nga y’emu ku nsonga lwaki balina okwekalakaasa okulaga Gavumenti nti bali mu mbeera mbi, yandibadde ebayamba okubakkiriza okuddamu okukola wakati mu kuteeka mu nkola engeri zonna ez’okulwanyisa Covid-19 okusasaana.
Enanga agamba nti Poliisi, yetegese bulungi ddala era tewali agenda kukkirizibwa kwekalakaasa kuba kiyinza okutabangula emirimu gy’abantu mu Kampala.
Asabye abayimbi okweyambisa amakkubo amatuufu okulaga Gavumenti okwemulugunya kwabwe okusinga okulowooza nti balina kwekalakaasa.
Enanga agamba nti abayimbi balina okweyambisa ekivvulu ky’omuyimbi Evelyn Lagu, okulaga Minisitule y’ebyobulamu nti basobola okutekateeka ebivvulu mu ngeri y’emu nga bateeka mu nkola obukwakulizo bw’okulwanyisa Covid-19.
Ku nsonga y’abayimbi okwekalakaasa, Ssanyu Cindy Pulezidenti w’ekibiina ekigata abayimbi mu Uganda ekya Uganda Musicians Association (UMA) agamba nti enteseganya wakati w’abayimbi ne Gavumenti zigenda mu maaso nga tewali nsonga yonna lwaki bekalakaasa.

Cindy agamba nti abayimbi abalina okwekalakaasa ku Lwokusatu, tebali wansi mu kibiina kyabwe ekya UMA, kasita ekirungi Poliisi egudde mu lukwe lwabwe.
Ate Poliisi mu disitulikiti y’e Lamwo ekutte abantu mwenda (9) ku misango gy’okutema emiti okwokya amanda mu ggoombolola y’e Palabek Gem.
Abakwate bakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande ku kyalo Beyo Goya mu ggoombolola y’e Anaka mu kikwekweeto ekyakoleddwa okulwanyisa abantu abegumbulidde okutema emiti.
Ekikwekweeto kyakulembeddwamu Minisitule evunaanyizibwa ku butonde bw’ensi n’amazzi, Poliisi ekuuma obutonde bw’ensi n’ekitongole ky’ebibira ekya National Forestry Authority (NFA) nga kyaduumiddwa Xavier Sekanabo, omusirikale okuva mu Poliisi y’obutonde bw’ensi.
Abamu ku bakwate mwe muli Bosco Ocaya agambibwa okulemberamu okusanyawo emiti era akuumibwa ku kitebe kya Poliisi e Gulu.
Sekanabo agamba nti abalala abakwate omunaana (8) bali ku Poliisi y’e Palabek Gem era essaawa yonna bagenda kubatwala mu kkooti.
Okumanya ebisingawo https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/192276632437802