Ebya Ssegirinya sibirungi, wadde ali ku limanda mu kkomera e Kitalya, kkooti ewadde ensala yaayo

Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Baguma Emmanuel akkiriza bannamateeka ba Sulaiman Kidandala okutwala mu kkomera e Kitalya ebiwandiiko okubikwasa Muhammad Ssegirinya ebiraga nti alina emisango mu kkooti gy’ateekeddwa okwewozaako.

Sabiiti ewedde, Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Gladys Kamasanyu yasindise Ssegirinya ku Limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 8, April, 2021  ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu.

Ssegirinya yakwabwa sabiiti ewedde Mmande nga 22, omwezi guno Ogwokusatu ku Mini Price mu Kampala bwe yali akulembeddemu banne okwekalakaasa, okusaba ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye okuyimbula abantu bonna abannakibiina ki NUP abazze bakwattibwa.

Wabula Kidandala agamba nti wadde Ssegirinya yalondeddwa ng’omubaka we Kawempe North, talina buyigirize nga mu kkooti, ayagala omulamuzi asazeeemu obuwanguzi bwa Ssegirinya, amulangirire ng’omubaka omulonde ow’e Kawempe ey’omumambuka.

Wadde ali ku limanda, omulamuzi Baguma  akkirizza bannamateeka ba Kidandala okuli Paul Kakande, Caleb Alaka ne Kato Fred okutwala ebiwandiiko mu kkooti e Kitalya okubikwasa Ssegirinya ebiraga nti mu kkooti, alina emisango egikwata ku buyigirize bwe.

Mungeri y’emu Kidandala agamba nti Ssegirinya okuwangula kwe, kwalimu vvulugu.

Oluvudde mu kkooti, munnamateeka Kato Fred ayogeddeko naffe era agambye nti balina okulwana okutuusa ng’omuntu waabwe Kidandala alayiziddwa okudda mu bigere bya Ssegirinya.

Ate Poliisi etubuulidde wetuuse mu kunoonyereza ku kali butemu Musasizi Musa myaka 23, eyakwattiddwa ku misango 5, egy’okutta abantu omuli abakyala 4 n’omwana omu okuva mu Febwali 2021.

Musasizi mutuuze we Nakulabye, Mujumba Zzooni C mu Divizoni y’e Rubaga mu Kampala, era ku kyalo abadde amanyikiddwa nga Uncle.

Ku Poliisi, ali ku misango gy’okutta Viola Kansiime, Noreen Nabirye, Mclean Ahereza ne Elizabeth Mutesi nga bonna baali batuuze b’e Makerere Kivvulu era battibwa mu nnaku 4 ez’omudiringanwa. Kansiime, Mutesi ne Nabirye oluvanyuma lw’okuttibwa, emirambo baagikumako omuliro mu bitundu bye Kasubi okumpi n’amasiro ate omulambo gwa Ahereza bagwokera Nateete.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Musasizi abadde yegulidde erinnya mu kutta abakyala mu bitundu bye Nakulabye.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agamba nti essaawa yonna Musasizi bamutwala mu kkooti.

Okumanya ebifa mu ggwanga ebirala https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/186472053076480