Abadde yakatta abakyala 4 oluvanyuma lw’akaboozi abotodde ebyama, mbadde njala 10, lwaki munemesa?
Ebipya byongedde okuvaayo ku muvubuka Musasizi Musa myaka 23, eyakwattiddwa ku misango 5, egy’okutta abantu.
Musasizi abadde yakatta abakyala 4 oluvanyuma olw’okubakozesa n’omwana omu mu bitundu bye Nakulabye mu Kampala okuva mu Febwali 2021.
Musasizi mutuuze we Nakulabye, Mujumba Zzooni C mu Divizoni y’e Rubaga mu Kampala, era ku kyalo abadde amanyikiddwa nga Uncle.
Ku Poliisi, ali ku misango gy’okutta omukyala Viola Kansiime, Noreen Nabirye, Mclean Ahereza ne Elizabeth Mutesi nga bonna baali batuuze b’e Makerere Kivvulu era battibwa mu nnaku 4 ez’omudiringanwa.
Kansiime, Mutesi ne Nabirye oluvanyuma lw’okuttibwa, emirambo baagikumako omuliro mu bitundu bye Kasubi okumpi n’amasiro ate omulambo gwa Ahereza bagwokera Nateete.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Musasizi abadde yegulidde erinnya mu kutta abakyala mu bitundu bye Nakulabye era Poliisi ebadde emunoonya.
Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru, Enanga agamba nti essaawa yonna Musasizi bamutwala mu kkooti era Poliisi eri mu kunoonya omusajja omuvuzi wa Bodaboda abadde ayambako Musasizi okutambuza emirambo okuva mu nnyumba oluvanyuma lw’okutta abakyala.
Poliisi egamba nti waliwo kabuyonjo okumpi n’awaka Musasizi wapangisa omusangiddwa ebizibiti omuli empale z’abakyala, ndaga muntu, ensawo z’abakyala, amasaawa g’abakyala era Poliisi etandiise okubyeyambisa mu kunoonyereza.
Ku Poliisi, Musasizi agamba nti wadde yakwattiddwa, okutta abakyala abadde agufudde muzannyo era abadde atandiise okunyumirwa.
Wabula omu ku bakyala agaanye okwatuukiriza amannya, agambye nti Musasizi abadde atta abakyala okufuna obugagga.
Omukyala agamba nti Musasizi yafuna ekiragiro okuva ku musawo w’ekinnansi okutta abakyala 10 oluvanyuma lwa akaboozi okusobola okugagawala mu bwangu.
Agamba nti wadde Musasizi yagambye Poliisi nti alina emyaka 23, engeri gy’abadde yeyisaamu, kiraga nti ali mu myaka 30 ate kirabika okutta abantu aludde ng’akikola.
Wabula Enanga agamba nti okunoonyereza kulaga nti Musasizi emirambo abadde agikumako omuliro, okubuzabuza obujulizi omuli n’okulemesa embwa za Poliisi ezikonga olusu okuwunyiriza.
Musasizi era agamba nti abadde asemberedde okutta omukyala omulala kuba yabadde amufunye nga bakoze entegeka okumukyalira.
Okufuna amawulire amalala, https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/268843868185188