Kyaddaki Caroline Mirembe avuddeyo ku bigambibwa nti ali mu laavu ne munnamawulire Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats.

Mu kiseera kino MC Kats talina mukyala amanyikiddwa oluvanyuma lw’okwawukana ne kabiite we Fille Mutoni myaka 29.

Wabula okuva omwezi oguwedde Ogwokubiri, ebigambo bibadde bitambula nti Caroline ali mu mukwano ne Kats era mbu agenda kumwanjula mu bazadde be.

Gyebuvuddeko, Kats yategekera Caroline akabaga k’amazaalibwa era agamba nti yakikola kuba mukwano gwe nnyo.

Caroline Mirembe ne MC Kats

Wabula enkya ya leero, Caroline bw’abadde ku 100.2 Galaxy FM mu Pulogulamu Mid Morning Tukoone, agambye nti “MC Kats mukwano gwange nnyo era mwagala nnyo, ate nze nina omusajja munveeko”.

Ebigambo bye, biraga nti MC Kats mukwano gwe, talina ssuubi lyonna kugikwatako wadde okugikubamu kuba alina omusajja agikuba obulungi.

Ate Pulezidenti w’ekibiina ekigata abayimbi ekya Uganda Musicians Association (UMA) Cinderella Sanyu amanyikiddwa nga Cindy sanyu alabudde abayimbi mu ggwanga lyonna okwewala embeera eyinza okubazaalira ebizibu.
Cindy agamba nti yafunye okuteegezebwa nti waliwo abayimbi, abagenda okwegata ku bannakatemba, Pulodyusa, abawandiisi b’ennyimba okwekalakaasa olunnaku olwaleero ku lwokusatu, okulaga Gavumenti embeera mbi gye balimu.

Abamu ku bayimbi bagamba nti tebalina kyakulya, Balandiloodi betaaga ssente zaabwe kyokka Gavumenti ekyagaanye okubakkiriza okuddamu okutekateeka ebivvulu okuyimba.


Cindy

Abayimbi n’okusingira ddala abato bagamba nti abakulembeze baabwe nga bakulembeddwamu Cindy, balemeddwa okutwala ensonga zaabwe mu Gavumenti era y’emu ku nsonga lwaki bagamba nti okwekalakaasa mu mirembe ku National Theatre mu Kampala, kigenda kuyamba nnyo okusindika eddoboozi lyabwe eri abakulu mu Gavumenti n’okusingira ddala eri omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.

Wabula Cindy asabye abayimbi bonna okuyimiriza entekateeka zaabwe okwekalakaasa wabula okweyambisa enteseganya okubanja Gavumenti okubakkiriza okuddamu okukola wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Cindy agamba nti abayimbi bonna abatekateeka okwekalakaasa tebali wansi wa UMA nga tebalina nsonga yonna lwaki bekalakaasa ate nga bali mu nteseganya.

Asabye abayimbi okwegatta mu kiseera kino okufuna eddoboozi limu ku nsonga zaabwe okusinga okweyawulamu n’okwerangira ebisongovu.