Omwana myaka 13 azaalidde mu bigezo bya PLE, abazadde balidde obuwuka

Abamu ku basomesa mu disitulikiti y’e Mpigi, bawanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe okunoonyereza ku basajja abegumbulidde okusobya ku baana abato.

Abasomesa okutabuka, kidiridde omwana ali mu gy’obukulu 13 ali mu kibiina eky’omusanvu (P7) okuzaala mwana munne Omulenzi bwe yabadde mu kigezo ky’okubala, olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri.

Omwana, muyizi ku St Balikuddembe Primary School ku kyalo Jalamba mu Tawuni Kanso y’e Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi era azaalidde mu kiriniki.

Okusinzira ku mukulu w’essomero Godfrey Ssemanda, omwana yafunye okulumwa, kwe kuyita abasawo ssaako n’abakuuma ebigezo, era amangu ddala yatwaliddwa mu kalwaliro akali okumpi gye yazaalidde.

Ssemanda agamba nti omwana, ali mu mbeera nungi nga n’olunnaku olwaleero, akomyewo okufundikira ebigezo bye.

Mungeri y’emu agamba nti omwana akyali muto era Poliisi yandibadde eyambako okuzuula omusajja eyamusobyako, atwalibwe mu mbuga z’amateeka.

Ate abazadde, bagamba nti omuggalo gwa Covid-19 y’emu ku nsonga lwaki muwala waabwe yafuna olubuto nga waliwo omulenzi eyali amukozesa olw’abaana obutasoma.

Ate omwogezi wekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) era omubaka wa Kira Municipality, omu ku bavuganya ku kifo ky’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu (sipiika) Ibrahim Ssemujju Nganda alangiridde nti wakuddukira mu kkooti singa amateeka agaleeteddwa akakiiko akuvunanyzibwa ku mateeka agafuga palamenti ganaayisibwa mu kiseera kino.

Ssemujju Nganda

Ssemujju okutabuka, kino kiddiridde akakiiko akavunaanyizibwa ku mateeka agafuga palamenti okuleeta ennongoosereza nga kaagala abeesimbyewo ku bwa sipiika n’omumyuka we okulekeraawo okunoonya akalulu mu lujjudde kisobozese okukuuma ekitiibwa kya palamenti.

Ssemujju agamba nti tewali ngeri yonna omuntu yenna anoonya akalulu gy’ayinza kwewala kusaba kalulu mu lujjudde era singa bayisa etteka okubalemesa, alina okugenda mu kkooti.

Mu kiseera kino abantu 4 abegwanyiza ekifo kya sipiika wa Palamenti omuli sipiika Rebecca Alitwala Kadaga owa National Resistance Movement (NRM) myaka 64, Jacob Oulanyah owa NRM myaka 56, Ssemujju myaka 47 ne Richard Ssebamala owa Democratic Party (DP).

Ku mmande, ssentebe w’ekibiina ki NRM era Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yasisinkanye Kadaga ne Oulanyah mu State House Entebe era kigambibwa yabasabye okukomya Kampeyini mu lujjude kuba kiwebuula ekifo kya sipiika n’ekitiibwa kya Palamenti.

Ekifaananyi ky’omwana kya Daily Monitor

Ebifa mu ggwanga ebirala https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/461226645192664