Poliisi ekutte Taata ali mu gy’obukulu 42 ku misango gy’okudda ku omwanawe gweyezaalira okumukozesa ssaako n’okumutikka olubuto ali mu gy’obukulu 17.

Mathew Joseph yakwattiddwa nga mutuuze ku kyalo Yola mu ssaza lye Adamawa mu ggwanga erya Nigeria.

Omwana wakati mu kulukusa amaziga agamba nti kitaawe abadde amusobyako emyaka egisukka 3 era nga yamusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna.

Taata abadde asobya ku mwana we mu kiseera nga ageenze okunaaba, emisana nga mukyala we ali ku mulimu ssaako n’okumutwala mu loogi.

Mu kiseera kino omwana yafunye obuluto era okutegeeza nti kitaawe yabadde amukozesa, kyavudde ku nnyina okumutiisa nga bw’agenda okumutwala ku Poliisi singa agaana okumutegeeza ani, nanyini lubuto.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo Sulaiman Nguroje agamba nti taata akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana we n’okumutikka olubuto era okunoonyereza kutandikiddewo.

Poliisi mu ggwanga erya Liberia eri mu kunoonya abasibe abasukka mu 90 abatolose akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu mu kwekalakaasa.

Bannansi mu bitundu bye Maryland bekalakaasiza mu kibuga Harper okumpi n’eggwanga lya Ivory Coast ne balumba ekkomera eddene mu kitundu kyabwe nga bagezaako okunoonya omutemu eyasse owa Pikipiki.

Mu kiseera ekyo, ekkomera lyamenyeddwa era abasibe abasukka mu 90 tebalabikako.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi Moses Carter, abekalakaasi baabadde bangi ddala wakati 20,000 ku 30,000 nga Poliisi kizibu nnyo okubayimiriza.

Mungeri y’emu agambye nti Poliisi etandiise okunoonya abasibe ssaako n’abantu abakulembeddemu okwekalakaasa.

Ate Gavumenti mu ggwanga erya Mauritius eyongezaayo omuggalo n’okutandiika olunnaku olwaleero era Poliisi eragiddwa okuteekesa mu nkola wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Mu biragiro ebiggya, omuntu yenna okutambula alina okwambala masiki, era okutambula nga togirina fayini ya 500,000 eza Mauritius oba okusindikibwa mu kkomera.

Poliisi egamba nti abantu 2,674 batanziddwa lwa kutambula nga tewali kwambala masiki ate 7,127 lwa kumenya biragiro bya kulwanyisa Covid-19.

Mungeri y’emu Gavumenti eyongedde okuwera enkungaana ate obutale bulagiddwa okusigala nga bugaddwawo.

Ate abaana abali wali wansi w’emyaka 18 teri kuddamu kutambula okuggyako okubatwala mu malwaliro oba okugemebwa.