Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti era Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine awanguddwa ku musango gw’okulemesa ekitongole ekisolooza omusolo ekya  Uganda Revenue Authority okuddamu okwekebejja emmotoka ye.

Okusaba kwe kugobeddwa akawungeezi ka leero, amyuka akulira kkooti enkulu etawulula enkaayana omulamuzi Emmanuel Baguma.

Omulamuzi Baguma agambye nti Kyagulanyi alemeddwa okulaga obujjulizi nti singa baddamu okwekebejja emmotoka ye, ayinza okutusibwako obulabe.

Emmotoka ya Bobi Wine eyogerwako

Nga 1, March, 2021, Kyagulanyi ng’ayita mu bannamateeka be aba Wameli and Company Advocates yaddukira mu kkooti enkulu mu Kampala okusaba kkooti okuyimiriza aba URA oba Bagenti okutwala emmotoka ye ekika kya Toyota Land Cruiser V8 nnamba UBJ 667F egambibwa nti teyitamu masasi okuddamu okwekebejjebwa.

Kyagulanyi agamba nti oluvanyuma lw’okulangirira okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda, Gavumenti erina ekigendererwa eky’okutwala ebintu bye.

Agamba waliwo emmotoka ezatwalibwa ebitongole ebikuuma ddembe oluvanyuma lwe ffujjo mu bitundu bye Arua mu 2018 kyokka bakyagaanye okuzimuddiza.

Wabula omulamuzi Baguma bw’abadde awa ensala ng’esindikiddwa ku ’email’, agambye nti omuntu yenna okulemesa ekitongole ki URA okuddamu okwekebejja emmotoka ye, alina okulaga obukakafu nti singa etwalibwa, ayinza okutusibwako obuvune.

Mungeri y’emu agamba nti Kyagulanyi alemeddwa okulaga nti emmotoka Toyota Land Cruiser V8 yokka gy’alina nga singa etwalibwa aba URA, kiyinza okutaataganya emirimu gye n’ebyokwerinda.

Omulamuzi agamba nti Kyagulanyi alemeddwa okumatiza kkooti lwaki alina okulemesa URA okutwala emmotoka ye okuddamu okwekebejjebwa.

Bannamateeka balumiriza nti Robert Kyagulanyi yatuukiriza ebisaanyizo byonna era yasasula omusolo gwa 88,612,027 kyokka aba URA bagamba nti omusolo ogwagibalirirwa guli wansi nnyo ku ze yalina okusasula.

Emmotoka eno yayita ku nsalo ya Uganda ne Kenya era yajjira ku ttaka ng’eriko nnamba za Kenya, KCY 550X era nnamba ya “Logbook” y’emmotoka ng’eri K3323207K era Fauz yasooka kusasula omusolo gw’okugivugira ku nguudo za Uganda.

Okusinzira ku Bukedde, aba URA beebuuza ku ba Interpol era nga January 6, 2021 ne baweereza ebbaluwa eraga nti emmotoka terina buzibu era URA n’ekolera ku bbaluwa eno okukkiriza empapula ezaaweebwayo Fauz.

 Empapula zaakolwako nga January 8, 2021 era ne ziyisibwa nga January 12, 2021.

Fauz bwe yafuna empapula ezirambika obwannannyini bw’emmotoka eno era ng’afunye n’ennamba yaayo, yateekayo empapula endala ezikyusa obwannannyini, ng’emmotoka eva mu mannya ga Fauz Khalid ng’edda mu mannya ga Robert Kyagulanyi Ssentamu.

Oluvannyuma emmotoka yatwalibwa ewa Kyagulanyi era n’agyanjulira abawagizi be nga February 21, 2021 mbu teyitamu masasi.