Wuuno Omusomesa akwattiddwa, asse mukyala we n’omwana myezi 4, abatuuze balidde obuwuka!
Poliisi mu disitulikiti y’e Lwengo ekutte George William Tugume myaka 47, amyuka akulira abasomesa ku Kaboyo Primary School ku misango gy’okutta mukyala we n’omwana we myezi 4.
Tugume oluvanyuma lw’okutta omukyala Rose Katushabe myaka 24 n’omwana, emirambo gyombi, yagisuula mu kabuyonjo y’awaka.
Abatuuze, bagamba nti Tugume n’omukyala baludde nga balina obutakaanya era baludde nga bebuuza, omukyala gye yageenda sabiiti namba nga n’amassimu ge tegaliko.
Wabula oluvanyuma lw’okunoonyereza, omulambo gw’omukyala n’omwana, gisangiddwa mu kabuyonjo nga gitandiise okuvunda mu Tawuni Kanso y’e Lwengo era amangu ddala Poliisi eyitiddwa, okusima kabuyonjo okuggyayo emirambo.
Antony Luwaga, Kansala we ggoombolola y’e Lwengo, avumiridde ekya ssemaka Tugume okutta mukyala we Katushabe ssaako n’omwana we era agamba nti emirambo giraga nti batemwatemwa okutuusa okufa.
Ate akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Lwengo, Doreen Ankunda, agambye nti Tugume yali musomesa mulungi kyokka embeera ebadde eraga nti omukyala Katushabe abadde yamukoowa nga n’omutwe gulaga nti gubaddeko obuzibu nga balina okumuyimiriza ku mirimu gy’obusomesa.
Wakati mu kulukusa amaziga, abatuuze ssaako ne famire y’omugenzi, addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Lwengo Peter Akampurira, abasabye okusigala nga bakakamu.
Omusomesa Tugume atwaliddwa ku Poliisi y’e Mbiriizi ku misango gy’okutta abantu era DPC Akampurira asabye abatuuze obutalowooza kya kutwalira mateeka mu ngalo.
Ate Poliisi mu Kampala ekutte bannansi ba Burundi 30 ku misango gy’okuyingira mu Uganda mu ngeri emenya amateeka.

Abakwate, ab’obuyinza baludde nga babalinya akagere era baasokedde kukwata abakulembera Joseph Garuka eyasangiddwa ng’awumudde mu Woteeri ku Martin Road mu Kampala.
Garuka yasangiddwa n’abakazi babiri (2) mu luumu era abakazi bagamba nti Garuka abadde abakozesa ku buwaze.
Garuka yakulembeddemu abasirikale okubatwala mu nnyumba esangibwa mu bitundu bye Bulenga, era Poliisi yazudde abakazi 30 nga tewali akkirizibwa kufuluma.

Abasinga ku bakyala abakwattiddwa tebamanyi Luzungu wadde Oluganda nga boogera, Lufalansa, Olunyalwanda n’Oluswayiri era kigambibwa babadde bagenda kubakukusa okubatwala e Buwalabu.
Omwogezi w’ekitongole ekinoonyereza ku misango mu poliisi, Charles Twine agambye nti abakyala n’omusajja ali mu mikono gyabwe era Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza okuzuula ekituufu.
Okufuna ebirala mu mawulire. https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1206654023085794