Wadde omuyimbi Aliaune Damala Badara Akon Thiam amanyikiddwa nga Akon myaka 47 ali mu Uganda okunoonya engeri y’okusiga ensimbi mu ggwanga, nate olunnaku olwaleero tukuletedde emu ku nnyumba ze.
Ennyumba (amaka) esangibwa mu Alpharetta mu ssaza lye Atlanta mu ggwanga erya America.

Akon mu biseera bye eby’eddembe

Akon amanyikiddwa ng’omuyimbi wa R&B, Polodyusa era kigambibwa ye muyimbi asinga obugagga mu Africa.
Akon munnansi wa Segenal Omumerika era kigambibwa mu bugagga azitowa obukadde 80 obwa ddola za America.
Mu America, Akon y’omu ku bayimbi abalina ennyumba ezitemagana ng’omuntu.

Akon musajja mufumbo, alina omukyala Tomeka Thiam n’abaana mukaaga (6).

Akon y’omu ku baggagga abaleeteddwa ebitongole bya Uganda ebisikiriza bamusigansimbi, okusiga ensimbi mu ggwanga Uganda.
Okusinzira ku Abby Walusimbi omuwabuzi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni omukulu ku nsonga za Bannayuganda abali ebweru wa Uganda agamba nti Akon yazze n’ekibinja ky’abantu 12 okukola ku by’okukola amakolero wano na ddala ag’ebyokulongoosa emmere.
Mungeri y’emu Walusimbi agamba nti Akon agenda kubikola ne Bannayuganda abaakuno bwe bagenda okutta omukago bazimbe n’ekizimbe ekisuubirwa okutuumibwa Akon Towers nga kijja kugattibwako erinnya ly’abagenda okutandika okukola nabo.

Akon yatuuse mu Uganda sabiiti ewedde ku Lwokutaano ekiro n’ayanirizibwa omuyimbi munnayuganda omu yekka alina BET Eddy Kenzo nga mu Uganda ye Ambasadda w’ebyobulambuzi.

Mu Senegal gye bamuzaala, azimbayo ekifo kya buwumbi mukaaga eza ddoola kye yatuuma Pan-African smart city okugatta Abafrika kyokka abaayo baakikazaako lya Akon City. Kino kifo ekiri ku yiika z’ettaka eziwera ezaamuweebwa Gavumenti kw’azimba woteri, situdiyo z’enyimba, eby’obulambuzi, amasomero n’amalwaliro nga bw’olaba ekibuga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/808645513381588