Joel Ssenyonyi akubye NUP omusumaali!

Wadde bangi ku bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) bagamba nti Pulezidenti waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) yawangula obwa Pulezidenti mu kulonda kwa 14, Janwali, 2021, abamu ku bannakibiina balina endowooza zanjawulo.

Bobi Wine agamba nti wadde yaggyayo omusango mu kkooti ensukkulumu ogw’ebyokulonda olwa kkooti okumulemesa okutwala obujjulizi mu kkooti, yawangula Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) kyokka akakiiko k’ebyokulonda kakyusa ebyava mu kulonda.

Gye buvuddeko Bobi Wine ng’asinzira ku kitebe ky’ekibiina e Kamwokya, yasaba bannayuganda okwekalakaasa mu mirembe okubanja obuwanguzi bwabwe, okuteekawo embeera Gavumenti okuyimbula abantu abaali bawambiddwa ssaako ne Gavumenti okuyimiriza okutwala abantu babuligyo mu kkooti y’amaggye.

Oluvanyuma lwa Bobi Wine okulangirira okwekalakaasa mu mirembe, Omubaka we Kawempe North omulonde, Muhammad Segirinya yakwata era ali ku Limanda mu kkomera e Kitalya.

Related Stories
GIWUNYE! Ebya Bryan White byonoonese, balagidde akwatibwe ate mu bwangu lwa kuzannyira mu vuvuzera z’abaana

Palamenti ezzeemu okulagira ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White akwattibwe ku Read more

Vicious LRA Commander Ogwen Handed 25 yrs In Jail

The International Criminal Court (ICC) at the Hague sentenced the former Lord's Resistance Army- LRA Read more

Ssegirinya yakwattibwa ku Mini Price, mu Kampala nga 23, March, 2021 bwe yali akulembeddemu banne okubanja Gavumenti okuyimbula bannakibiina ki NUP abali mu makkomera ku misango egitamanyiddwa.

Mu kkomera e Kitalya, yasindikibwa ku misango gy’okukuma mu bantu omuliro era wakudde mu kkooti nga 15, April, 2021.

NUP ekkiriza nti Bobi Wine yawangulwa!

Okusinzira ku mwogezi w’ekibiina ki NUP Joel Ssenyonyi, mu kulonda okuwedde mu Janwali, 2021, yalondebwa ng’omubaka we Nakawa West.

Ssenyonyi agamba nti yawangula owa NRM Margret Zziwa Nantongo ne Kenneth Paul Kakande eyali talina kibiina.

Mungeri y’emu agamba nti wadde yawangula okugenda mu Palamenti, eyali akulembeddemu ekibiina ki NUP ku bwa Pulezidenti Bobi Wine yawangulwa okulonda, “Ssenyonyi was selected as the NUP parliamentary candidate for the Nakawa West seat ahead of the 2021 Ugandan general election.[4] He won the seat after defeating the National Resistance Movement’s Margret Zziwa Nantongo and independent candidate Kenneth Paul Kakande, eventhough the NUP presidential candidate, Bobi Wine lost the elections of Uganda 2021“.

Wadde Ssenyonyi ayinza okuba talina buyinza ku mukutu ogwa ‘Wikipedia’, ebigambo ebiriyo, ayinza okuba abimanyiko oba tabimanyiko.
Naye twebuuza, Ssenyonyi ng’omuntu, ayinza kuvaayo atya okwegaana ebigambo byonna ebiri ku Wikipedia n’okusangulayo obulimba?

Ebigambo bya Ssenyonyi

Omwogezi w’ekibiina Ssenyonyi okulaga nti Bobi Wine yawangulwa ku Wikipedia, kabonero akalaga nti Yoweri Kaguta Museveni owa NRM alandiridde kulayira ku bwa Pulezidenti.

Okulonda akulira oludda oluvuganya!

NUP okulonda akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, kiraga nti ddala tewali kubusabuusa kwonna bawangulwa ku bwa Pulezidenti.

Mu kiseera kino bali mu ntekateeka okulonda ani agenda okulemberamu ababaka ku ludda oluvuganya ku Palamenti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/778086133125440