Omwana myaka 6 attiddwa, maama ne taata bazirise!

Entiisa ebuutikidde abatuuze b’e Luweero, omwana myaka 6 eyabula  ku lunnaku Lwokusatu bw’azuuliddwa nga mufu era kigambibwa attiddwa.

Gift Nanyonga abadde abeera ne jjajjaawe Joyce Bukirwa ku kyalo Katuumu mu ggoombolola y’e Butuntumula.

Daniel Makubuya omu ku batuuze agamba nti omulambo gw’alabiddwa omulaalo eyabadde atutte ente ku kidiba okunywa amazzi.

Makubuya agamba nti omulambo gubadde ebikuyiro ku bulago era kiteeberezebwa nti yattiddwa.

Related Stories
GIWUNYE! Ebya Bryan White byonoonese, balagidde akwatibwe ate mu bwangu lwa kuzannyira mu vuvuzera z’abaana

Palamenti ezzeemu okulagira ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White akwattibwe ku Read more

Vicious LRA Commander Ogwen Handed 25 yrs In Jail

The International Criminal Court (ICC) at the Hague sentenced the former Lord's Resistance Army- LRA Read more

Ate Ronald Ssenyonyi, ssentebe w’ekyalo Katuumu agamba nti oluvanyuma lw’omwana okubula, banoonya ekyalo kyonna nga talabikako.

Ssenyonyi agamba nti bazadde b’omwana batuuze mu katawuni k’e Luweero ne Matugga mu disitulikiti y’e Wakiso era okunoonyereza kulaga nti omwana yattiddwa ne basuula mu kidiba okubuzabuza obujjulizi.

Abatuuze wakati mu kulukusa ku maziga, basabye Poliisi okunoonyereza okuzuula ekyaviriddeko omwana okufa.

Ate waliwo omwana omulenzi myaka 17 yesse mu disitulikiti y’e Bukedea.

John Emaat, 17 abadde abeera ku kyalo Tukum mu ggoombolola y’e Kangole mu disitulikiti y’e Bukedea yanywedde obutwa mu kiseera nga Kojjaawe John Omoding atambuddemu.

Yatwaliddwa mu ddwaaliro lya Bukedea HCIV gye yafiiridde akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano.

Wabula Josephine Akol, Kansala we Koreng agamba nti famire ebadde yakeewola ssente mu bbanka ya BRAC emitwalo 60 okutandikawo akalimu.

Mu kiseera kino Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavuddeko Emaat okwetta.

Ate mu Kampala, Omusumba we kkanisa yabarokole  eya christianity Focus Center mu Ndeeba David Kiganda akiguddeko, Abatuuze bwabakedde kwekalakaasiza mu maaso ge kkanisa ye nga bamulanga  kubazibira kkubo nga kiva ku nkaayana ze ttaka.

Abatuuze bagamba nti Omusumba Kiganda musajja wa Katonda, alina okuba ekyokulabirako nga kiswaza okuziba ekkubo omuyita abantu.

Ate mu kisaawe ky’emizannyo, abadde omumyuka wa kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga The Uganda cranes Hassan Wasswa Mawanda alangiridde nga bwanyuse okuzannyira Uganda cranes oluvanyuma lw’okugyizannyira emipiira 75.

Hassan Wasswa

Hassan Wasswa agamba alina emyaka 33 era mbu yazaalibwa mu February 14, 1988, yatandika okuzannyira Uganda Cranes mu mwaka gwa 2006.

Yabadde amyuka kapiteeni Denis Onyango myaka 35.

Okumanya ebikwata ku ‘Awards’ – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/778086133125440