Ebyo sibituufu!

Kyaddaki omwogezi w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Joel Ssenyonyi avuddeyo ku bubuka obuli ku mukutu ogwa Wikipedia.

Olunnaku olw’eggulo ku Ssande, omukutu guno, gwafulumizza amawulire agalaga nti kituufu Ssenyonyi yawangula Margret Zziwa Nantongo owa National Resistance Movement (NRM) ne Kenneth Paul Kakande eyali talina kibiina ku ky’omubaka we Nakawa West, okusinzira ku Wikipedia.

Mungeri y’emu Wikipedia ya Ssenyonyi eraga nti kituufu eyali akulembeddemu ekibiina ki NUP ku bwa Pulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) yawangulwa ku bwa Pulezidenti, “Ssenyonyi was selected as the NUP parliamentary candidate for the Nakawa West seat ahead of the 2021 Ugandan general election.[4] He won the seat after defeating the National Resistance Movement’s Margret Zziwa Nantongo and independent candidate Kenneth Paul Kakande, eventhough the NUP presidential candidate, Bobi Wine lost the elections of Uganda 2021“.

 Wabula Ssenyonyi agamba nti talina buyinza ku mukutu gwa Wikipedia buli muntu alina eddembe okuteekayo ekimusanyusa era ebimu ku biriyo, sibituufu

Related Stories
GIWUNYE! Ebya Bryan White byonoonese, balagidde akwatibwe ate mu bwangu lwa kuzannyira mu vuvuzera z’abaana

Palamenti ezzeemu okulagira ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White akwattibwe ku Read more

Vicious LRA Commander Ogwen Handed 25 yrs In Jail

The International Criminal Court (ICC) at the Hague sentenced the former Lord's Resistance Army- LRA Read more

Mungeri y’emu agambye nti talina buyinza okulemesa omuntu yenna okuwandiika omuli n’okutambuza obulimba ku Wikipedia kuba omukutu guli mu lujjudde ku buli muntu yenna.

Ssenyonyi agamba nti abantu balina ebigendererwa byabwe nga balina okweyambisa emikutu nga Wikipedia okutambuza obulimba.

Wadde ssentebe w’ekibiina ki NRM Yoweri Kaguta Museveni yalangirirwa ng’omuwanguzi mu kulonda kwa 14, Janwali, 2021, bannakibiina ki NUP nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina kibiina kyabwe Bobi Wine bagamba nti okulonda tekwali kwa mazima na bwenkanya.

Bobi Wine yagenda mu kkooti ensukkulumu okuwakanya ebyava mu kulonda kyokka oluvanyuma yaggyayo omusango mu kkooti nga kivudde ku nsonga ez’enjawulo omuli okumulemesa okutwala obujjulizi mu kkooti.

Bobi Wine yalangirira nti omusango agututte mu kkooti y’abantu era kwe kusaba bannayuganda okwekalakaasa mu mirembe okubanja obuwanguzi bwabwe.

Mungeri y’emu yateeka Gavumenti ku nninga okuyimbula abantu bonna abawambibwa okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’okusaba eky’okuyimiriza okutwala abantu babuligyo mu kkooti y’amaggye.

Ebifa mu ggwanga ebirala – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/456046115704562