Omwana yetaaga buyambi ali mu maziga!

Poliisi y’e Butaleja ekutte abantu babiri (2) ku misango gy’okusobya ku mwana omuto ali mu gy’obukulu 13, okuyambako ebitongole ebikuuma ddembe mu kunoonyereza.

Omwana ali mu kibiina eky’omusanvu (P7) ku kyalo Polyabigere mu ggombolola y’e Kachonga yasobezeddwako abasajja musanvu (7) akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga ku ssaawa nga emu.

Omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza amannya ge, agambye nti omwana yabadde ne muganda we omuwala nga bava kukyaba nku mu kibira, abasajja 7 kwe kubatayiza mu kkubo.

Omwana omu yasobodde okudduka, kyokka ne bakwatako omwana omu, era abasajja bonna 7 bamusobezaako.

Omwana yatuuse awaka nga yenna ali mu maziga, akulukuta omusaayi mu bitundu by’ekyama kyokka yabadde atidde okwogera, olw’abasajja okumusuubiza okumutta, singa ategezaako omuntu yenna.

Wabula kigambibwa wadde omwana omu yasobodde okusimatuka nadduka ssaako n’omwana eyasobezeddwako, abasajja abenyigidde mu kikolwa ekyo, bamanyikiddwa ku kitundu kyokka mu kiseera kino, baliira ku nsiko.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Moses Mugwe, omwana ateekeddwa ku ddagala okumutangira okulwala nga kisoboka okuba nti omu ku basajja yabadde mulwadde wa Siriimu.

Mungeri y’emu agambye nti Poliisi ekutteko abasajja 2 okuyambako mu kunoonyereza n’okunoonya banaabwe abakyasigaddeyo.

Ate ye RDC we Butaleja Stanley Bayole, awanjagidde ekitongole kya Poliisi, okunoonya basseduvuto abasobeza ku mwana omuto, bakangavulwe.

RDC asabye abatuuze okuyamba ku Poliisi okugiwa amawulire ku basajja abanoonyezebwa okusinga okubalinda okusobya ku baana abalala.

Mu disitulikiti y’e Butaleja, eky’okusobya ku baana abato kyeyongedde era okusinzira kw’alipoota y’abasawo ku kitebe kya disitulikiti wakati wa 2019 – 2020, abaana abawala abali wakati w’emyaka 10-19, 5,265 basobezebwako ne battikibwa embuto.

Mu 2019, disitulikiti yafuna abaana 2,601 abafunye embutto ate mu 2020 – 2,664.

Ate alipoota ya Poliisi eraga nti 2019, abaana 13,682 basobezebwako nga kubo abaana 13,441 baana bawala ate 241m baana balenzi.

Ate abatuuze bagamba nti ebitongole ebikuuma ddembe okulwawo mu kunoonyereza ku basajja abakwattiddwa ku misango gy’okusobya ku baana abato, kyongedde okunyiiza abazadde ssaako n’abaana abasobezeddwako okulwawo okufuna obwenkanya.

Ebirala ebiri mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/778086133125440