Kyaddaki, kkooti ya Buganda Road wansi w’omulamuzi Gladys Kamasanyu eyimbudde Muhammad Ssegirinya, eyakalondebwa ng’omubaka we Kawempe ey’omambuka (North) ku bukadde busatu (3) ez’obuliwo.

Ssegirinya ng’akulembeddwamu munnamateeka we Medard Lubega Sseggona asuubiza okudda mu kkooti singa ayimbulwa, alina omusango mu kkooti ogw’ebyokulonda ku buyigirize bwe gw’alina okwewozaako ate omusango, ogwamusindisa mu kkomera, gukkirizibwa okweyimirirwa.

Mu kkooti, aleese abantu basatu (3) okuli omubaka omulonde owe Ntenjeru eyamaserengeta (South) Patrick Nsanja Kayongo, Engineer Robert Mawanda ne Nyeko Derrick, eyalondeddwa e Makindye East era buli omu asabiddwa obukadde 50 ezitali za buliwo n’okulekera kkooti ndaga muntu zaabwe.

Ssegirinya ng’ali Kitalya ku kkamera za kkooti

Omulamuzi Kamasanyu akkiriza okusaba kwa Ssegirinya era amulagidde okudda mu kkooti nga 12, Omwezi ogujja Ogwokutaano, 2021.

Ssegirinya abadde ku limanda mu kkomera e Kitalya ku misango gw’okukuma mu bantu omuliro bwe yakwattibwa omwezi oguwedde Ogwokusatu nga 22 ku Mini Price mu Kampala bwe yali akulembeddemu banne okwekalakaasa okubanja Gavumenti okuyimbula bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) abazze bakwattibwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Ssegirinya okuyimbulwa, asinzidde mu kkomera e Kitalya ku nkola ya ‘Video Conferencing’ era ebigenda mu maaso mu kkooti, naye abadde ku lutimbe.

Ate Poliisi ekutte abakyala babiri (2) abalumbye Palamenti nga bekalakaasa okusaba sipiika Rebecca Kadaga, okuyingira mu nsonga zaabwe okuyimbula abantu baabwe, abaakwattibwa.

Abakyala bano nga bakulembeddwamu Ritah Nakayiza ssaako ne famire zaabwe wamu ne bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) okuva mu disitulikiti y’e Mayuge, bagamba nti bakooye embeera mbi, olw’abasajja okubasiba olw’okuwagira Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).

Abakyala mu kwekalakaasa

Wakati mu kulukusa amaziga, bagamba nti embeera eyongedde okubanyigiriza omuli okunoonya eky’okulya nga tebakilaba, okubagoba mayumba, abaana obutasoma, nga sipiika Kadaga yasigadde okuyingira mu nsonga zaabwe kuba naye mukyala, ategeera ensonga zebogerako.

Mu kutambula nga  bakutte ebipande okuwandikiddwa ‘Muyimbule abantu baffe’, Poliisi ebazingiriza ku Kiira Rood era abakyala 2 bakwattiddwa nga batwaliddwa bakukuluma.

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti abakwate batwaliddwa ku Poliisi y’e Kiira.

Ebirala ebifa mu ggwanga kuliko – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/280454120298387