Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga avuddeyo ku bulamu bwa Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II era agumizza Obuganda okusigala nga bakakamu.

Abantu mu Buganda ne ggwanga lyonna, okuva ku Lwokubiri nga 13, April, 2021 ku lunnaku lwa mazaalibwa ga Kabaka mu Lubiri e Mmengo baasigala basobeddwa, olwa Ssaabasajja Kabaka okusiima okulabikako eri Obuganda ku mazaalibwa ge ag’emyaka 66 kyokka ng’embera gy’alimu, alaga nti mulwadde.

Katikkiro bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Bulange e Mmengo akawungeezi ka leero, agambye nti, “Abaabadde ku mukolo gw’amazaalibwa ku lunaku olwo naabo abagoberedde omukolo guno ku TV neku mutimbagano balabye nga waliwo ekikyuseeko ku ntunula ya Ssaabasajja Kabaka eyabulijjo. Nga omuntu omulala yenna waliwo ebiseera lwetufuna obukosefu nga omuntu omulala yenna”.

Mayiga agamba nti, “Ssaabasajja Kabaka abadde atwanyizibwa ‘Allergy’, ekizibu kino oluusi kiva ku mmere gyetulya oluusi ku mpumbu eva ku bimuli, oluusi kiva u nfuufu n’ebintu ebirala bingi. Era obuzibu bwa ‘Allergy’ oluusi bumukaluubiriza mu kussa naddala nga ayambadde akakookolo. Ebyo byonna ebyogerwa nti Ssaabasajja Kabaka yaweebwa obutwa ssi bituufu nakatono n’engambo zonna ezibungeesebwa ku mutimbagano teziriimu kanigguusa era tubasaba obutazigenderako”.

Katikkiro Mayiga agamba nti balina abasawo abakugu abakola ku Ssaabasajja era basuubira nga bwebasaba nti Omutanda ajja kuvuunuka embeera eno mu bbanga ely’okumpi.

Eddoboozi lya Mayiga

Ssaabasajja wamu ne Maama Nnabagereka Sylvia Nagginda asiimye nagemebwa ekirwadde kya COVID-19 era abakugu babasanze mu Lubiri lwe e Kireka enkya ya leero.
Oluvanyuma maama Nnabagereka akubiriza abantu okujjumbira okwegema Covid-19 kuba kiyambako omubiri okulwanyisa obulwadde.

Kabaka ne Nnabagereka nga bafuna ddoozi ya Covid-19

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/778086133125440