Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni awadde bannayuganda esuubi ku kya bannansi okuddamu okweyagala n’okulya obulungi ssente zaabwe.
Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano, yagambye nti wakati mu kulwanyisa Covid-19, bannayuganda balina okwenyigiramu nnyo.
Pulezidenti Museveni yagaanye okuggyawo Kafyu okuva ku ssaawa 3 ez’ekiro okutuusa 11:30AM ez’okumakya nga kiyinza okuwa omukisa abantu okuddamu okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19.
Agamba nti Kafyu asobodde okuyamba okutangira abantu okung’aana ekiro, ekiyinza okutambuza obulwadde ssaako n’okulemesa abantu abakyamu omuli ababbi abayinza okwenyigira mu bikolobero omuli obubbi.

Mu bigambo bya Pulezidenti, yawadde eggwanga esuubi ku ky’abantu okudda mu bbaala, Kafyu ssaako n’ebivvulu, abantu okuddamu okweyagala.
Museveni yagambye nti amabaala, ebivvulu ne Kafyu bikyaliwo okutuusa nga bannayuaganda obukadde nga butaano n’ekitundu (5,500,000) bugemeddwa.
Mu kiseera kino okusinzira ku Minisitule y’ebyobulamu, abantu abali 200,000 bebakkiriza okugemebwa ekirwadde kya covid – 19 n’eddagala lya AstraZeneca wabula Pulezidenti Museveni agamba nti balina okulinda okutuusa ng’abantu abasukka 5,500,000 bagemeddwa.
Pulezidenti Museveni ku myaka 76, yawadde Bannabitone amagezi n’okusingira ddala abayimbi, okweyambisa emitimbagano okuyimba okusinga okulinda abantu okudda mu bisaawe, Beach oba ebikaali.
Yawadde eky’okulabirako ekiri mu ggwanga erya Bungereza mu kikopo kya Pulimiya Liigi, eky’abazannyi okusamba emipiira ng’ebisaawe temuli bantu. Agamba nti bannabitone balina okuyiiya okusinzira ku mbeera nga kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19, okuyimba nga bayita ku mitimbagano omuli Face Book, kiyinza okuyamba.
Munnamateeka Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu mu musango gw’avunaana Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo n’agisaba esazeemu ebiragiro ebyaweereddwa Omulamuzi Asuman Muhumuza.
Okusinzira ku Bukedde, Mabirizi mu bbaluwa gy’awandiikidde kkooti enkulu, agamba nti Muhumuza yeekobaana n’omuwaabi wa gavumenti ne yeddiza omusango ne bakukuta nga bakola buli kimu nga tebamutegeezezza nga ye eyaloopa omusango.
Agamba nti byonna bye baakola bikontana n’akawaayiro 17 mu tteeka erirambika ekitongole ekiramuzi era bikontana n’akawaayiro 48 ne 50 mu tteeka erirambika emisango gy’ebibonerezo.
Omusango gwe yeemulugunyaako guli ku namba 290/2021 mw’avunaanira Ssabalamuzi Dollo okweyisa mu ngeri etasaana n’atuuka okulumba fayiro ya mulamuzi munne Esther Kisaakye.