Omuyimbi Lydia Jazmine myaka 30 alemeddeko okwongera amaanyi mu kuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba nga Talenti esasula.
Jazmine ku myaka 30, talina musajja amanyikiddwa newankubadde bamwogeddeko nti y’omu ku bawala abalina abasajja ab’enjawulo abamwagalako ne badduka.

Mu 2018, mu kiseera ng’omuyimbi Eddy Kenzo alina obutakaanya n’eyali mukyala we Rema Namakula, ebigambo byali bitambuzibwa nti Kenzo ali mu laavu ne Jazmine.

Kenzo ne Jazmine nga Rema ali ku siteegi

Mbu Kenzo okwagala Jazmine, yali emu ku nsonga lwaki Rema yafuna obutakaanya ne Kenzo obwaviirako okwawukana.
Rema kati ali mu ssanyu kuba yafuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya gwe yayanjula mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka.

Newankubadde Rema yafuna obusajja omulala Dr. Hamzah, akyagaanye okumuzaalira omwana.

Wadde ebigambo byaliwo, mu kiseera kino Kenzo ne Jazmine bonna bakyali ku mudaala gw’abanoonya.

Grenade abaza kaki ne Jazmine?
Grenade ne Jazmine bonna bayimbi era kigambibwa balina oluyimba lwabwe oluyitibwa ‘Feeling’. ‘Feeling’ kigambo kya mukwano era kikozesebwa nga waliwo ayagala munne n’okusingira ddala waliwo entekateeka y’okunyumya akaboozi.

Jazmine ne Basajjamivule

Mu kiseera kino Jazmine ne Basajjamivule balina okukola kyonna ekisoboka okutunda oluyimba lwabwe mu bawagizi baabwe.
Jazmine asobodde okuteeka vidiyo ku mukutu ogwa Instagram ng’ali ne Grenade era mu ngeri y’okulaga nti balina okutunda oluyimba lwabwe, akkiriza Basajjamivule Grenade okukwata ku sikaati ne mukiwato era kabuze kata okumunywegera.

Omuyimbi Big Eye ebiyingiddemu.
Omuyimbi Big Eye eyakuyimbira ennyimba omuli Physically Fit, Nfaamu, Indicator, Mango Juice n’endala ayingidde mu nkolagana ya Jazmine ne Grenade.

Jazmine ng’ali mu ‘Feeling’

Big Eye naye asobodde okweyambisa Instagram okulabula Basajjamivule mu ngeri y’okusaaga era agambye nti, “Ssebo manya wokoma Grenade Official ku Lydia Jazmine ntaama ask Ykee”.

Lwaki Grenade yakazibwako lya Basajjamivule?
Kigambibwa wadde Grenade muvubuka muto, asukkiridde okwagala abakyala, omuli n’abafumbo era mu nsonga z’akaboozi, talina muzannyo, oyinza okutya okumulekera mukyala wo.
Grenade wadde yegaana, naye kigambibwa yaliko mu laavu n’eyali mukyala wa Diamond Platnumz, Zari Hassan myaka 40, era mbu ne mukyala w’omugagga Sulaiman Kabangala Kbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga, Jalia Vivian Mbuga yali muganzi we.

Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/778086133125440