Wuuno Omusomesa awonye okuttibwa abatuuze lwa kusobya ku mwana we!

Tom Amayo, akulira abasomesa ku Yole primary school mu ggoombolola y’e Katrini mu disitulikiti y’e Terego akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana we n’okumukuba.

Amayo yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu abasirikale okuva ku Poliisi y’e Katrini.

Okunoonyereza kulaga nti Amayo aludde nga yenyigira mu kusobya ku mwana mu nnyumba y’essomero gy’abadde asulamu era kigambibwa omu ku bakozi b’essomero yamusaangiriza kwe kutemya ku Poliisi, abasomesa ssaako n’abatuuze.

Agamba wakati mu kulukusa amaziga agamba nti kitaawe abadde yamusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna era abadde amukozesa emirundi egisukka mwe 3 buli wiiki.

Agnes Anyu, adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Terego agamba nti Amayo aguddwako emisango gy’okusobya ku mwana omuto n’okutulugunya.

Geoffrey Aziz, omu ku bali ku lukiiko lw’essomero, agambye nti waliwo olukiiko oluyitiddwa mu bwangu oluvanyuma lwa mukama waabwe okukwattibwa.

Aziz agamba nti balina okwetekateeka, okugenda mu maaso n’okusomesa abayizi.

Ate abatuuze nga bakulembeddwamu Moses Maku bagamba nti omusomesa Amayo talina kudda mu kitundu kyabwe era basabye Poliisi okunoonyereza obulungi kuba ayinza okuba abadde akozesa n’abaana abalala.

Abatuuze bagamba nti omwana alina okufuna amazima n’obwenkanya olwa kitaawe abadde alina okumukuuma ate okumukozesa.

Wabula Poliisi egumizza abatuuze okusigala nga bakakamu kuba okunoonyereza kutandikiddewo.

Abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe w’eggomboloola y’e Kyampisi omulonde Jamir Yiga beralikirivu olw’omuwendo gw’abaana abali mu myaka egirina okubeera ku massomero (7 – 15) abeyongedde obungi mu birombe by’amayinja.

Kyampisi esangibwa mu disitulikiti y’e Mukono naye erimu ebirombe by’amayinja ebisuuka mu 14 naye ssentebe Yiga agamba ebirombe gye bikomye okubeera ebingi mu kitundu kyabwe n’okulemesa abaana abalina okudda ku massomero.

Ssentebe Yiga agamba olw’ebirombe, bangi ku bawala abato bafunye embutto okuva mu bavubuka b’oku kyalo n’abasajja, abalala ebirombe bibaziise ne bafa ate abaana bagaanye okuddayo ku massomero kuba bafunye ku ssente.

Mungeri y’emu agamba nti batuuze bafunye obuzibu obw’enjawulo okuva ku birombe omuli okubalemesa okwebaka, okwonoona amayumba gaabwe, abamu bafunye endwadde z’emitima.

Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/778086133125440