Eyali Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, His Grace Stanley Ntagali, yetonze ku kya sitaani okumukema, nakola obwenzi ate nga musajja mufumbo.

Ntagali yayenda ku mukyala, eyali muk’omusajja Judith Tukamuhabwa, eyali mukyala wa Rev Christopher Tukamuhabwa, era ekyama kyabwe, kyatuuka mu bantu ku ntandikwa y’omwaka guno ogwa 2021.

Wabula akawungeezi k’olunnaku olweggulo ku Lwokuna, mu maaso g’Abalabirizi, ababuulizi, n’abakkirizi abasamusaamu, ku lutikko e Namirembe, mu kujjaguza emyaka 60 egye Kanisa nga yetengeredde, yasabye okusonyiyibwa era Yetonze, bw’akkiriza nti kye yakola yali nsobi sitaani yamukema, okudda ku mukyala wa munne, mu kikolwa eky’obwenzi.

Mungeri yetondedde Rev Tukamuhabwa eyali nnanyini mukyala, Famire ye ssaako n’bantu bonna okumusonyiwa kuba sitaani yamukema.

Eddoboozi lya Ntagali

Judith Tukamuhabwa mukyala wa Rev. Christopher Tukamuhabwa omusomesa w’ebyeddiini (Theology & Religious Studies) mu yunivasite ya Bishop Barham University College mu disitulikiti y’e Kabale.
Obufumbo bw’omwawule oyo, kigambibwa bwali buyuuga emyaka ng’esatu era Ntagali yasabibwa okuyambako okubatabaganya.

Judith ne bba Rev Christopher Tukamuhabwa

Kigambibwa nti Ntagali asibuka mu Kigezi kyokka nga yawangaalira nnyo e Bunyoro gye yawummulira yayingira mu nsonga olw’omukwano n’enkolagana ne ffamire ya Rev. Tukamuhabwa.
Kyategeezeddwa nti muk’omwawule yafuna olubuto n’azaala omwana kati akunukkiriza emyaka ebiri. Kyokka we yamuzaalira nga waliwo obutakkaanya ne bba era olwo nga muk’omwawule avudde e Kabale akolera Mbarara gye yatandika edduuka ly’engoye.

Omwawule yabuusabuusa okuba nnannyini mwana kubanga baali tebakwatagana mu bya buliri.
Muk’omwawule yatwala ensonga mu kkooti e Mbarara baawukane ne bba ng’emu ku nsonga z’awa kwe kuba nga tebakyabeera bombi (omukazi abeera Mbarara ate Omwawule ali Kabale).
Okusinzira ku Bukedde, Omukyala yeesanga mu buzibu bw’okulabirira omwana n’atuukirira Ntagali agambibwa okugaana okumuwa obuyambi. Dr. Kazimba Mugalu bwe yalondeddwa ku Bwassaabalabirizi, omukazi n’amutuukirira mu ngeri y’okumuyamba era n’amuyitiramu ensonga zaabwe ne Ntagali.

Akakiiko mu kanisa kayita Omulabirizi okuwa oludda lwe era Ssaabalabirizi yayitibwa n’akkiriza ensobi gye yakola era ne yeetonda mu bwangu.

Kigambibwa enkwatagana yatandika mu 2018 nga Ntagali akyali Ssaabalabirizi era emirundi egimu nti Judith yajjanga Kampala okumusisinkana amuyitiremu ebizibu bye.
Mu nsisinkano ezo, kigambibwa nti sitaani mwe yayitira okukkakkana ng’omukazi atengudde Ntagali.

Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/778086133125440